TOP
  • Home
  • Busoga
  • Abaggyamu embuto beeyongedde e Iganga

Abaggyamu embuto beeyongedde e Iganga

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2016

AB’EBYOBULAMU mu disitulikiti balaze okutya olw’omuwendo gw’abakazi n’abawala abaggyamu embuto okuba waggulu.

Report 703x422

Abakulembeze abaalondeddwa. Enju ezimbiddwa mu maaso g’ekkanisa.

AB’EBYOBULAMU mu disitulikiti balaze okutya olw’omuwendo gw’abakazi n’abawala abaggyamu embuto okuba waggulu.

Susan Akello akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekya Reproductive Health Uganda mu Busoga, yategeezezza nti newankubade ekitongole kikuzudde nti omuwendo gw’abakazi n’abawala ababatuukirira okufuna obujjanjanjabi oluvannyuma lw’okukuna obuzibu nga bamaze okuggyamu embuto bungi.

Yannyonnyodde nti ekizibu abasinga ku baggya baba embuto baziggyiramu mu basawo ba kinnansi.

Yabyogeredde mu lukiiko lwa buli mwaka abakozi n’abayambi b’ekitongole kino mwe bakubira ttooci mu bye batuuseeko n’okulonda abakulembeze baabwe ku ttabi ly’e Iganga.

Omukolo gwetabiddwaako Ssentebe wa disitulikiti y’e Iganga omulonde, Patrick Kayemba.

Abaalondeddwa ye, Hajji Rajab Bwagu Sssengoba nga ssentebe, Simon Balondemu mumyuka wa ssentebe ate Joshua Bakalikwira n’aba omuwanika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa...

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa bagguddwaako emisango 2

Mim1 220x290

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde...

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde ng’azaala

Pop1 220x290

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu...

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu

Kat1 220x290

Eyasse owa Mobile Money bamukutte...

Eyasse owa Mobile Money bamukutte amasasi ne gavuga

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo