TOP
  • Home
  • Busoga
  • Ab’e Busoga enjala ebazinzeeko kati basiibirira miyembe!

Ab’e Busoga enjala ebazinzeeko kati basiibirira miyembe!

By Musasi wa Bukedde

Added 1st June 2016

BW’OBA olina abantu bo e Busoga ng’oludde okubawuliza, y’essaawa okutuukayo obalabe ekiriyo si kulwa nga bakufaako nga totegedde!

Steady1 703x422

Famire ku kyalo Igalaza mu ggombolola y’e Kagulu ng’erya ekyemisana ky’emiyembe.

BW’OBA olina abantu bo e Busoga ng’oludde okubawuliza, y’essaawa okutuukayo obalabe ekiriyo si kulwa nga bakufaako nga totegedde!

Enjala eri mu bitundu by’e Busoga abaayo ejula kubatta era kati famire ezimu bwe zirya ekyemisana, ekyeggulo bakirunga mu mmindi sso ng’abalala kati basiibirira ffene, miyembe n’obuugi obutaliimu ssukaali.

Enjala okusinga eri mu disitulikiti y’e Buyende ne Kamuli sso nga ne ku maduuka, ebbeeyi y’ebintu yeekanamye, era ebadde emmere kati kafuuse kamere.

Embeera eno yeeraliikirizza abantu bangi mu kiseera kino nga balindirira amakungula ga July.

Okusinziira ku ssentebe w’eggombolola y’e Kagulu, Stephen Malagala, yagambye nti, “Kati akalembereza akaliwo ka miyembe egiyambye famire ennyingi, era tusaba sizoni yaagyo ereme kuggwaako tuleme kusigala nga twayuuya.”

Yagambye nti ebbula ly’emmere livudde ku kyeya ekyakuba ebyalo wakati wa December 2015 ne March 2016, era enkuba we yatonnyera nga lumonde avunze. Ku byalo; Igalaza, Nabbuku, Bukutula, Nkoone, Nsomba n’ebirala, famire ezimu ziwanula ebibbo by’emiyembe ne batuula okwo okwetaasa.

Abaana abato be bawa ku kuugi ne banywako. “Obuwunga nabwo kati tetukyabusobola. Kkiro kati eri wakati wa 1,200/- ne 2,000/-,” Rev. Robert Waiswa, Omwawule w’ekkanisa ya e Igalaza bwe yagambye.

Ye ow’ebyokwerinda mu ggombolola y’e Kagulu, Mubarak Bakaaki, yatidde nti kati n’obubbi bwandyeyongera n’asaba aboobuyinza okubaako kye bakolawo. Ebbeeyi y’emmere mu maduuka erinnye.

Kkiro ya muwogo omukalu eyali mu 300/- kati eri ku 800/-, kasooli eyali ku 400/- kati ali ku 1,000/-.

Omuceere ogwali ku 2,200/- kati guli wakati wa 2,800/- ne 3,600/-, ensawo y’obumonde eyali ku 80,000/- kati eri ku 160,000/-, emirengo gya muwogo ne lumonde egyali ku 1,000/- kati giri ku 2,000/- sso ng’akalo kaavudde ku 2,400/- ne kadda ku 3,000/-.

Akulira ebyobulimi e Buyende, Dr. Fredrick Kabbale yalabudde abantu okukozesa enkuba n’obuvunaanyizibwa nga buli etonnya babaako ne kye basimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ket1 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze butto wa ovakkeddo gy'ayinza okutasaamu asiriiza entamu ssaako okufuukuuka...

Gwa 220x290

Anoonya omuvubuka ali siriyaasi...

OMWAKA nga gutandika abaana abawala bangi basazeewo okukkakkana era bangi bayigga bavubuka batuufu. Ku bawala 10...

Noonya 220x290

Nnoonya omwami ananjagala n’omwana...

Njagala omwami alina empisa, eyazimba nga mwetegefu okunfunira omulimu n’okugenda ewaffe n’okunjagala n’omwana...

Teba 220x290

Esther weebale kumponya laavu y’abayaaye...

NZE Henry Ssekabo, 26 nkola gwa busuubuzi nga mbeera Kawempe mu muluka gwa Bwaise II, Tebuyoleka Zooni.

Spice 220x290

Maneja Roger ye yamponya okudda...

NG’EBULA ennaku mbale okutuuka ku konsati ya Spice Diana etuumiddwa ‘Spice Diana live concert’ egenda okubeera...