TOP
  • Home
  • Busoga
  • Dokita w'amagumba bamuggalidde lwa kubba byuma bya ssweeta y'eddwaaliro ly'e Jinja

Dokita w'amagumba bamuggalidde lwa kubba byuma bya ssweeta y'eddwaaliro ly'e Jinja

By Donald Kiirya

Added 3rd June 2016

OMUSAWO w’amagumba mu ddwaaliro e Jinja aggaliddwa ku bigambibwa nti yabba ebimu ku byuma okuva mu ssweeta y’eddwaaliro eryo.

Kirya1 703x422

Dr. Kisakye ng'ali ku CPS e Jinja. EBIFAANANYI BYONNA BYA DONALD KIRYA

OMUSAWO w’amagumba mu ddwaaliro e Jinja aggaliddwa ku bigambibwa nti yabba ebimu ku byuma okuva mu ssweeta y’eddwaaliro eryo.

Robert Kisakye, ye yakwatiddwa ku ssaawa 11:00 ez’akawungeezi ku Lwokubiri era ng’abaamukutte kwabaddeko omumyuka wa RDC w’e Jinja, Eric Sakwa n’abamu ku bakozi okuva mu kitongole ekirondoola ebikwata ku byobulamu ekya State House (Health Monitoring Team).

RDC Sakwa, agamba nti, Kisakye yasangiddwa mu waadi gye bajjanjabira abalwadde b’amagumba n’akwatibwa.

 r isakye nga yaakakwatibwa Dr. Kisakye nga yaakakwatibwa

 

“Ofi isi yange yafuna amawulire nti waliwo ebyuma ebyabbibwa okuva mu ddwaaliro lino era obubbi buno bwaliwo enfunda bbiri, nga ku mulundi ogwasooka, nga wiiki ng’emu emabega, Kisakye yakwatibwa ng’alina ebimu ku byuma bye yali abbye ng’abikukusa okuva mu ddwaaliro n’atwalibwa ku poliisi y’e Jinja naye mpulira nti yateebwa n’ebyuma bye yali abbye ne bimuweebwa oluvannyuma lw’okusasulayo obukadde 3 ku bukadde 10 abamu ku boofi isa ba Poliisi ze baamusaba naye nga tukyakinoonyerezaako,” Sakwa bwe yategeezezza.

 r isakye ngatwalibwa ku oliisi ye inja okubitebya Dr. Kisakye ng'atwalibwa ku Poliisi y'e Jinja okubitebya

 

Yayongeddeko nti oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okulala mu ofi isi ye, yasazeewo n’akubira Dr. Diana Atwine, akulira ttiimu erondoola ebyobulamu (Health Monitoring Team) eyaweereza basajja be abaamukutte omulundi ogwokubiri n’atwalibwa ku poliisi wabula DPC w’e, Jinja Felix Mugizi n’akulira ba mbega ku Poliisi eyo, George Ochola tebabaddeewo.

Abakungu okuva mu State House bagguddewo omusango ku Kisakye oluvannyuma ne bamutwala e Kampala mu mmotoka yaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...