TOP
  • Home
  • Busoga
  • Obwakyabazinga bwa kusimba ku nsonga 6 mu bajeti

Obwakyabazinga bwa kusimba ku nsonga 6 mu bajeti

By Donald Kiirya

Added 13th July 2016

OBWAKYABAZINGA bwa Busoga bwanjudde ensonga mukaaga ze bugenda okuyitamu okukulaakulanya Busoga mu bbanga lya myaka etaano.

Mulabe 703x422

Omumyuka wa Katuukiro wa Busoga asooka Dr. Muhammad Lubega Kisambira (ku ddyo) ng’alagira Abasoga okugula ekifaananyi kya Kyabazinga.

OBWAKYABAZINGA bwa Busoga bwanjudde ensonga mukaaga ze bugenda okuyitamu okukulaakulanya Busoga mu bbanga lya myaka etaano.

Omumyuka wa Katuukiro wa Busoga asooka Polof. Muhammad Lubega Kisambira ensonga zino yazanjulidde Abasoga ababeera e Nansana ku luguudo lw’e Hoima abeegattira mu kibiina kya ‘Basoga Nseete Hoima Road Chapter’ abaabadde ku wooteeri ya Holy Farm ku Ssande.

Lubega yagambye nti ensonga Obwakyabazinga ze bugenda okwesibako mulimu:

1. Okutumbula obumu mu Basoga

2. Okukulembeza ensonga y’oBwakyabazinga

3. Okusaba Gavumenti eddizze Busoga ebintu byaayo (Ebyaiffe)

4. Okutumbula ebyobulamu n’obuyonjo

5. Okutumbula ebyenjigiriza

6. Okulwanyisa obwavu.

BAJETI YA BUWUMBI 12

Yagambye nti bajeti y’Obwakyabazinga ya buwumbi 12 nga ssente zino zisuubirwa okuva mu bintu bya Busoga ssaako n’Abasoga bonna abaagaliza Busoga okukulaakulana.

Endala zakuva mu bintu bya Busoga ebitundibwa okuli ekifaananyi kya Kyabazinga, satifi keeti n’ebirala.

Lubega yayongeddeko nti Abasoga babadde baeesiba ku nsonga ezibaawula okusinga ezibagatta ng’Abasoga era n’abakubiriza okusigala obumu beewale okulwanyisa bannaabwe n’okusiga obukyayi.

Yategeezezza nti Busoga ya buli omu nga tetunuulira bibiina byabufuzi n’eddiiniabantu ze balimu naye balafuubanira ekintu kimu eky’okukulaakulanya Busoga nga bagizimbira ku musinga bajjajjaabwe gwe baaleka.

Yagambye nti Kyabazinga yasiimye okutongoza empaka z’emipiira egy’Amasaza ng’omukolo gwa kubaawo nga July 23 mu disitulikiti y’e Iganga.

Ssaabawandiisi w’ekibiina kya Basoga Nseete, Paul Luganda yasabye Abasoga beenyumirize mu kusiika ccapati za ‘Rolex’ kuba zibatunze nga kati boogolwako ku mikutu gy’amawulire egyenjawulo omuli ne CNN.

Luganda yagambye nti ekimu ku bigendererwa by’okutandikawo ebibiina bino, kulaba nga bakunga Abasoga abali mu bitundu eby’enjawulo okulaba nga beenyigira mu mirimu egiyamba okukulaakulanya Obusoga.

Yabasabye obuteenyooma mu bye bakola wabula bakole ebyo ebiri ku mulamwa ng’ekibiina kyabwe kizze kuzimnba Busonga nga bongera ku misingi egyatandikibwawo bakadde baabwe.

Luganda yagambye nti balina entegeka y’okutongoza ebibiina bya Basoga Nseete mu bibuga ebirala okuli, Ntebe, Kira ne Mukono.

Oluvannyuma abayimbi, Abasoga baasanyusizza abantu nga kwabaddeko Jovas ne Kadabada.

Katuukiro Lubega yawerekeddwaako baminisita okuva mu Bwakyabazinga bwa Busoga okwabadde Joan Machora Kitto ow’ensonga zeebweru, Yudaya Babirye ow’ensonga za Kyabazinga, Richard Matumu ow’ebyobuwangwa, Sheila Gandi ow’ebyobulamu ne Ivan Kiirya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...