TOP

Omukwano gunzita

By Musasi Wa

Added 20th March 2012

Mukazi wange baamulongoosa gye buvuddeko abasawo ne batusaba twesonyiwe eby’okwegatta okumala ebbanga lya myezi ena.

Mukazi wange baamulongoosa gye buvuddeko abasawo ne batusaba twesonyiwe eby’okwegatta okumala ebbanga lya myezi ena. Ng’ezezzaako okukigumiikiriza okumala kati omwezi gumu naye mpulira nga nfa. Njagala kunyumya ku kaboozi. Waliwo omuwala gwe mpulira nga ntandise okwegomba era njagala kusindako naye mukwano waakiri omulundi gumu. Ssenga nkikole?
P.K e Bweyogerere.


Nga tonnalowooza kwebaka na mukazi mulala, sooka weebuuze nti ssinga gwe gwe baalongoosa ne basaba mukazi we yeesonyiwe eby’okwegatta kyokka n’ayenda wandiwulidde otya! Nga bw;osobodde okugumiikiriza omwezi n’egisigaddeyo nkakasa osobola.

Okwenda ojja kuba olidde mu munno olukwe ate n’obwenzi buleeta endwadde z’ekikaba nga siriimu n’obulala.

N’omuwala gw’ogamba okwagalako omulundi ogumu kizibu okukikomya. Anti bagamba nti ekiwoomereze kizaala enkenku.

 

Omukwano gunzita

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.