TOP

Omukyala tayagala kukoma kuzaala

By Musasi Wa

Added 5th June 2012

Tulina abaana munaana naye mukyala wange tayagala kukoma kuzaala. Nfubye okwogera naye ku nsonga eno naye akyagaanyi okukitegeera era nabadde nsazeewo nze nneekomye.

Tulina abaana munaana naye mukyala wange tayagala kukoma kuzaala. Nfubye okwogera naye ku nsonga eno naye akyagaanyi okukitegeera era nabadde nsazeewo nze nneekomye.

Ekizibu ekiriwo mukyala wange takola era obuvunaanyizibwa bw’okulabirira abaana n’awaka bwonna buli ku nze. Ssenga nkole ntya? 

Oli mutuufu kuba abaana omunaana ku mulembe guno ate ng’omukyala takola bangi. Simanyi oba mukyala wo yali akola n’abivaako oba nga takolangako.

Bw’aba takolangako tayinza kumanya buzibu bw’oyitamu ng’onoonya ssente ky’ova olaba nga ne bw’omugamba mukome okuzaala takkiriza kuba ye alowooza nti olina obusobozi obubalabirira.

Ekirala omukyala ono abaana b’azadde bangi ayinza okufuna obuzibu ng’azaala kuba kati amagumba gakaddiye. Abazadde b’edda baasobolanga okuzaala abaana abangi kuba baalyanga bulungi naye ennaku zino endya n’embeera gye tulimu si nnungi.

Yimirira ku magulu go ng’omwami osalewo ky’oyagala.

Omukyala tayagala kukoma kuzaala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze