TOP

Ssenga nkole ntya okubakwataganya?

By Musasi Wa

Added 14th August 2012

Ekizibu ekiri mu maka gange simanyi ngeri gye ng’enda kukivvuunukamu. Mukyala wange mmwagala nnyo naye takolagana na bazadde bange ate nga nabo mbaagala nnyo era nabo banjagala. Nfubye nga bwe nsobola okubakwataganya naye bikyagaanyi. Ssenga mpa ku magezi abantu bano mbakwataganye ntya?

Ekizibu kino kinene ddala era osaanye okikwate n’obwegendereza kuba abantu b’oyogerako bonna bakulu mu bulamu bwo.

Ebiseera ebisinga abazadde bwe babeera baagala nnyo mutabani waabwe baba bamulingiriza nnyo naddala ku nsonga ezikwata ku bulamu bwe n’amaka ge.

Era bbo mu bwongo babeera balowooza nti akyali mwana muto. Okusooka baba balowooza nti omukyala gw’ofunye agenda kutwala omukwano gwonna gw’olina gye bali oguzze ku mukyala wo kale nga balina okulwana ku kino. Wabula kino bakikola mu bukyamu kuba omuntu bw’akula aba yeetongodde.

Ate abazadde abamu okwagala abaana baabwe bakuteekamu akajanja kangi kale omukyala n’alemwa okwetaaya mu maka ge. Ate oluusi kiba ku bakyala nga baagala okulemesa abazadde okwagala abaana baabwe.

Olina okusooka okwetegereza obuzibu buno kwe buva lw’ojja okumanya engeri entuufu ey’okubatabaganya. Naye omukyala bw’aba asobola asirike abazadde abatunuulire tabaggyaako lutalo.

Ssenga nkole ntya okubakwataganya?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze