TOP

Mukazi wange akyuse!

By Musasi Wa

Added 19th November 2013

Ssenga, mukazi wange okuva lwe yafuna omulimu omusava akyuse. Eyali akomawo awaka ng’obudde bukyali nange ne nzira nga buli kimu akitegese, kati takyefiirayo. Ebintu by’awaka takyabifaako, buli kimu kyongera kwonooneka, engoye nze nzeegololerera, olumu n’ebintu nze mbyoza. Bw’akomawo awoza akooye n

2013 11largeimg219 nov 2013 110856133 703x422



Ssenga, mukazi wange okuva lwe yafuna omulimu omusava akyuse. Eyali akomawo awaka ng’obudde bukyali nange ne nzira nga buli kimu akitegese, kati takyefiirayo. Ebintu by’awaka takyabifaako, buli kimu kyongera kwonooneka, engoye nze nzeegololerera, olumu n’ebintu nze mbyoza. Bw’akomawo awoza akooye n’emmere takyayagala kugifumba ate yagaana okufuna omukozi nti nja kumuganza. Nkole ntya? Omukazi mmugaane okuddamu okukola kuba ne ssente z’akola siziraba zonna azimalira ku kwezigula.

Mwana wange ng’olabye ennaku. Baana bange abawala simanyi kibalimu. Bangi bwe mufuna emirimu, ng’obuvunaanyizibwa bwammwe ng’abakazi mubwerabira. Eky’okumugaana okukola kiyinza obutamalaawo kizibu kuba ayinza n’okusalawo okunoba.

Omukazi ono alabika yeetaaga okubuulirirwa. Naye nga kino tonnakituukako, yogerako naye omulage nti enneeyisa ye ekunyiga era nti toli musanyufu.

Kituufu emirimu egimu gikooya naye tekisaana ate kwerabira buvunaanyizibwa bwo. Omusajja okukuyamba ku mirimu gy’awaka tekikuggyaako kubeera nti gwe mukazi. Kale bw’aba ng’akoowa nnyo mu nnaku ez’okukola, ate ku wiikendi lw’atakoze abeera akola ki?

Omukazi ono yandiba ng’alimu n’olujoogerezo. Bw’oba nga wamufuna mu makubo amatuufu, bw’olaba nga gwe oyogedde naye ne yeerema, funa abakulu babatuuze mu nsonga muzigonjoole.

Mukazi wange akyuse!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...