TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nkoze ntya okufuna omukyala omulungi?

Nkoze ntya okufuna omukyala omulungi?

By Musasi Wa

Added 26th November 2013

Sikutegedde bulungi. Oyogera ku mukyala omulungi mu ndabika oba omulungi mu mpisa? Mu ndabika, abakyala abalungi bangi ddala naye abalina empisa batono. Ate mwana wange, ku mukyala empisa ky’ekisinga obukulu.

2013 11largeimg226 nov 2013 125802110 703x422



GYEBALEKO Ssenga. Nkoze ntya okufuna omukyala omulungi? 

Sikutegedde bulungi. Oyogera ku mukyala omulungi mu ndabika oba omulungi mu mpisa? Mu ndabika, abakyala abalungi bangi ddala naye abalina empisa batono. Ate mwana wange, ku mukyala empisa ky’ekisinga obukulu.

Mwana wange ekibuuzo kino kizibu naddala ennaku zino. Okusookera ddala, abaana bangi tebakyalina mpisa kale ne bwe bakula, tebafuuka bakyala wabula abakazi. Bw’oba onoonya omukyala ow’empisa, tunuulira amaka mwe bamuzaala. Kizibu omukyala  okubeera n’empisa embi ng’ava mu maka amalungi.

Sigaanyi gye bali naye ng’okusinga, amaka gayamba ku mpisa. Ekirala kirungi okubeera n’omuntu ng’omwetegerezza. Tomala gafuna muwala n’osalawo amangu ago.

Kirungi okwetegereza omuntu okumala ebbanga okukozesa ng’emyaka ebiri. Bw’obeera n’omuntu okumala ekiseera, omuyiga era n’omanya empisa ze. Ekirala olina okwetegereza abantu b’abeera nabo.

N’ekirala weebuuze ddala asobola okukuza abaana obulungi, muyonjo, amanyi okufumba, amanyi omusajja kye ki? Naye era olina okumanya nti ku nsi tekuli malayika.

Kale bw’ofuna omukyala ng’alina empisa gwe z’otwala nga kikulu gy’oli genda n’oyo. Kubanga oyinza obutafuna oyo gw’oyagalira ddala.

Ate nammwe abawala mwetegereze nnyo abasajja. Funa omusajja ng’omaze okwekkaanya empisa ze.

Nkoze ntya okufuna omukyala omulungi?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lobe 220x290

Owa bbooda eyalaba eyatemula Nagirinya...

OWA boda eyavuganga ddereeva wa Nagirinya, Ssaalongo Ronald Kitayimbwa, ayogedde bwe yayitibwa poliisi y’e Katwe...

Twala 220x290

Kayihura nnatti za Amerika zimunyize...

GEN. Kale Kayihura alaajanye ku nnatti za Amerika, bw’ayise mu bannamateeka be ne bakola enteekateeka okusisinkana...

Funanga 220x290

Abaserikale abayambye Amerika okufuna...

OBUMU ku bujulizi Abamerika bwe beesigamyeko okussa nnatti ku Gen. Kale Kayihura, baabuggye mu lipoota eyakolebwa...

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....