TOP

Omuwala agaanyi okukomawo

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2019

Mukyala wange yagenda kulya Ssekukkulu naye takomawo! Waliwo abangamba nti bamulaba mu kibuga. Nkole ntya?musas

Ssenga1 703x422

Mukyala wange yagenda waabwe okulya Ssekukkulu naye agaanyi okukomawo. Yansaba okugeda ewaabwe ne nzikiriza, naye mmwegayiridde akomewo akyeremye. Bwe yatuuka eyo yang'amba mmuweereze ssente akomewo ne mpeereza emirundi esatu naye nga takomawo. Kati bang'amba nti bamulaba mu kibuga. Naye bw'omubuuza kiki ekigaanyi anziramu mbu waliyo obuzibu ewaabwe naye tambulira. Senga nkoze ntya? Ewaabwe simanyiiyo, yang'amba Semuto naye nga Semuto wanene!

Emirundi esatu ng'oweereza ssente naye nga takomawo, ddala olowooza oyo akyali mukyala wo?

Ate bakugamba bamulaba mu kibuga. Okusookera ddala,ennaku zino abawala abamu balimba nnyo. Omuwala oyo ayinza okuba nga ne mu kyalo teyatuuka nga yanoba oba ng'alina omusajja gw'abeera naye.

Kubanga omuntu okugenda ku Ssekukkulu n'amalayo ebbamba eryo lyonna ate nga wamuweereza ssente ezimukomyawo naye tomulaba, si kiwa nti anadda. Ono mwesonyiwe alabika takwagala.

Kubanga ssinga akwagala yandibadde yakomawo ku ssente ezaasooka. N'ekirala, obeera otya n'omuntu nga tomanyi waabwe? 

Ssinga omuntu oyo afuna ekizibu okola otya? Baana bange muyige okubeera n'obuvunaanyizibwa kubanga embeera eno esobola okukutuusa mu buzibu.

Mu butuufu omuwala ono tomumanyi, era oba yasalwo obutakomawo yakuwonya kubanga mu maaso eyo yali agenda kukufuukira ekizibu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono