TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Adwadwalikanye lwa batakisi kulemwa kuteesa na KCCA n’aba bbaasi ku ngeri gye banaasaabaza abantu

Adwadwalikanye lwa batakisi kulemwa kuteesa na KCCA n’aba bbaasi ku ngeri gye banaasaabaza abantu

By Musasi Wa

Added 15th March 2012

ABAVUZI batakisi mwekazeekaze muve awo omukazi afuga Kampala we yabamezze ekigwo n’enkoona ne yeesimira mu ttaka akeediimo kammwe n’akamalamu amaanyi!

2012 3largeimg215 mar 2012 112509533 703x422

ABAVUZI batakisi mwekazeekaze muve awo omukazi afuga Kampala we yabamezze ekigwo n’enkoona ne yeesimira mu ttaka akeediimo kammwe n’akamalamu amaanyi!

Kye muba mukola kyekyo kyennyini mukama wammwe Katongole afuga UTODA kye yakoze. Ye bwe yalabye nga Jennifer Musisi wa Kampala amuyitiriddeko takyamusobola kwe kuggyamu ekkanzu gy’abadde afugiramu UTODA n’asiba ettaayi era kati ali mu mugongo gwa Jennifer gy’ateeterera.

Katongole n’olulimi lwa UTODA olwa “UTODA ke bagikwatako Kampala ajja kwaka omuliro” olwo takyalwogera. Kati ayogera lulimi lwa bamusibattaayi ng’akubiriza banne be yajeemesanga bajeemulukuke, ensimbi za KCCA baziweeyo nga Jennifer akyaseka.

Jennifer baddereeva batakisi yabatemye ekkoligo lye yabameggesezza. Baabadde bakyererejja nga takisi zaabwe bwe “bazipaakinze” bwe zitajja kusaabaza bantu Jennifer n’abasamba awabi n’ayimbula bbaasi za Pioneer n’eggaali y’omukka zitandike okukola ogwazo.

Bwe kuba kulaga buyinza, obwo nabwo Jennifer yabulaze. Ggwe kale wali olabye ku bbaasi ezigenda ku nguudo zisaabaze abantu nga tezinnafuna bipande bya nnamba zaazo nga eza Pioneer bwe zaatandise? Awo nno Jennifer bw’akuboggolera nti “nva mu maaso” muviire mangu kubanga kirabika n’obuyinza akozesa bw’embuga!

Naye ate ku ludda olulala ebintu bino byandibaamu n’obujega. Teebereza keediimo ki akayinza okugenda mu maaso ng’abakalimu beetemyemu abamu ne badiimulukuka nga n’akeediimo tekannatandika? Baddereeva abamu baadiimulukuka dda ssente za KCCA ne bazisasula. Olwo kati ako kakyali keediimo muki?

Kati baddereeva batakisi basigalidde kukola ekyo mukama waabwe Katongole kye yakoze eky’okwegatta ku Jennifer Musisi nga bwe bayimba akayimba ka Elly Wamala nti “Twalyako bye twalya ebyasigalira byaba musaayi muto alemera ku ssengejjero oyo enkindo zinaamubuna ....!

Abatakisi temulinda kubuna nkindo. Mutuule wamu ne KCCA n’aba bbaasi za Pioneer mufune engeri gye munaakolamu ogw’okusaabaza abantu nga eby’okukoonagana n’okusika omugwa mubivuddeko.

Bo abantu tebabeeyinuza kubanga tebajja kubayamba mu bwediimo bwammwe. Baakoowa dda olw’ebisale bya takisi zammwe ebya bbulukanike bye mubadde mubaggyako era bye mubadde mutuntumula buli we mwagalidde. Era eyo y’ensonga lwaki bbaasi baazanirizza n’emikono ebiri kubanga basuubira nti ze zinaleetawo enjawulo.

Leka Ddwaddwaddwa Mumansa akikinale akubuuze; Obanga amaanyi tolina lwaki weesiba ku bintu? Lwaki todiimulukuka ofune w’onookolera mu Kampala wa Jennifer?

Bwe nfumbisa akaveera nga nkasaanikizza ku ngulu awatali kukoona ku mmere yennyini nakyo kirina obulabe?
Akaveera kayamba okukuuma ebbugumu ekireetera emmere okuggya amangu era y’ensonga lwaki abantu bangi

Adwadwalikanye lwa batakisi kulemwa kuteesa na KCCA n’aba bbaasi ku ngeri gye banaasaabaza abantu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo