TOP
  • Home
  • Emboozi
  • DDWADDWADDWA munyivu olw’abazannyi mu Olympics obutalabirirwa ne basubwa emidaali

DDWADDWADDWA munyivu olw’abazannyi mu Olympics obutalabirirwa ne basubwa emidaali

By Musasi Wa

Added 9th August 2012

ABAZANNYI abaagenda okukiikirira Uganda mu mizannyo gya Olympics e London baazannye badwadwalikana era bwe batyo ebintu ne bitabagendera bulungi.

2012 8largeimg209 aug 2012 165530990 703x422

ABAZANNYI abaagenda okukiikirira Uganda mu mizannyo gya Olympics e London baazannye badwadwalikana era bwe batyo ebintu ne bitabagendera bulungi. Omuddusi w’emisinde omwatiikirivu Moses Kipsiro yadwadwalikanye nnyo olwa Gavumenti okukolanga ebisuubizo n’etebituukiriza, kye yagambye nti nakyo kyabakotoggedde ne batakola bulungi mu Olympics.
 
Kipsiro yakukkulumye nti bwe yaleetera eggwanga ekitiibwa nga aliwangulidde emidaali ebiri egya zaabu mu mizannyo gya ‘Common Wealth’, Gavumenti yacamuukirira n’emuwa ebirabo ebisuubize nga kwe kumuzimbira ennyumba eteng’eenya era n’okumugulira kapyata w’emmotoka.
 
Yagambye nti yagenze mu Olympics ng’omutima gumwefundikidde kubanga ali nga eyasuubizibwa empewo ebyamusuubizibwa tabifunanga. Okusuubiza eby’empewo, kye kimu ku ebyo ebyonoonye ennyo eby’obufuzi mu ggwanga. Abantu bangi mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu baasuubizibwa okuweebwa eggulu n’ensi. (bababbeko obululu bwabwe), naye na buli kati bawooba buwoobi, ebisuubizo tebituukirizibwanga.
 
Naye ate okusuubiza empewo bwe kutuuse ne mu byemizannyo awo ne gujabagira nga ogw’omunafu azadde kaliira. Era bwetyo Uganda mu Olympics kyenkana yaakuvaayo ngalo nsa ng’ogusima ebbumba! Nga eky’abazannyi okusuubizibwa ebirabo ne bitabaweebwa okyakitadde ku bbali, ate waliwo n’eky’okusuubiza ensako ensava nayo n’etebaweebwa.
 
Abaagenda mu Olympics baagenda n’essuubi ery’okufuna ensako ensava eneebasobozesa okwetaba obulungi mu z’emizannyo egyo nga  tewali kye bajula. Abazannyi ensako bafunye nkapa nnyo wabula ate yo ensako ensava n’eweebwa olugana lw’abakungu ababateekebwako nti bagende bakube mu ngalo nga Uganda ewangula emidaali.
 
Newankubadde emidaali tegyawanguddwa nga abazannyi emitima gibeetippye olw’okuyisibwa obubi, kyokka bo abakulu ababadde beefunira ensako ensava, ebintu byabagendedde bulungi era kati be batendereza empaka za Olympics nga bwe zaabadde ennyuvu.
 
Kipsiro agamba nti Uganda ejja kulwawo okukulaakulana mu by’emizannyo kubanga ensimbi ezaalyeyambisiddwa okukulaakulanya emizannyo, zeezo ezibbibwa era ne ziddiibuudirwa ku lugana lw’abakulu abawerekera ttiimu z’abazannyi, okugenda okuzikubira mu ngalo. Era awo Dwaddwaddwa Mumansa we nkikinalira n’embuuza nti abakulembeze baffe ani eyabalogera mu kusuubiza empewo?

Ye kigasa ki okusindika olugana lwa boofi isa bawerekere ttiimu bagende beefunire ku nsako ensava kyokka yo ttiimu yaffeekomewo engalo ensa ng’emidaali gya Olympics giremeddeyo? Kitalo! 

Munyiivu olw’abazannyi mu Olympics obutalabirirwa ne basubwa emidaali

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....