TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Amaka omutali nkolagana tegakulaakulana

Amaka omutali nkolagana tegakulaakulana

By Musasi Wa

Added 3rd June 2015

NDI musanyufu nnyo olw’omukisa gwe nnafuna ogw’okubatuuzanga ng’abafumbo n’okunyumyamu nammwe ku nsonga ezeekuusa ku maka.

2015 6largeimg203 jun 2015 102900527 703x422

 NDI musanyufu nnyo olw’omukisa gwe nnafuna ogw’okubatuuzanga ng’abafumbo n’okunyumyamu nammwe ku nsonga ezeekuusa ku maka.

Amaka nsonga nkulu nnyo era nange nneeyama obutakoowa kubakubira ttooci mu nsonga yonna gye ndaba nga tetuukiridde musobole okugenda mu maaso.

Ku mulundi guno ensonga endeese yeekusa ku mikisa mu maka gammwe. Bangi ku mmwe naddala abaana ab’obuwala muzze nnyo mu kwekubagiza n’okuwoza ng’emikisa bwe gyabeesamba.

Buvunaanyizibwa bwo ng’omukyala mu maka okulaba ng’okolerera emikisa n’embeera ennungi okireko eyanaaba olweza. Ng’omukazi mu maka olina emikisa mingi egifuula amaka go ekifo eky’egombesa. Naye okudda mu kukuba emimiro, okwegomba abalala wamu n’okwekyawa oyongera kwezza mabega.

Ggwe ayagala emikisa okweyiwa mu maka go, okusooka kwa byonna olina okulongoosa enkolagana wakati wo ne balo, abaana bammwe n’abooluganda abalala. 

Naye buli lw’olekawo oluwonko wakati wo n’abantu bano, emikisa oba ogituulira.Mu nkola entuufu, abantu bano bafuule mikwano gyo okusinga okubeesamba.

Buli lw’ofuula balo okuba mukwano gwo, enkolagana ejja kutojjera mu maka kibawe omukisa oguteesa ku nsonga ezijja okutwala amaka gammwe mu maaso.

Mufisseewo akaseera ng’abafumbo mwogere ku nsonga z’amaka naddala ezeekuusa ku nnyingiza n’ensaasaanya.

Abasajja bangi boonoona ensimbi mu bintu ebitazimba maka naye bwe mutuula awamu mu ngeri eno mujja kusobola okuziba emiwaatwa omuyita ensimbi zino ebintu bitereere. Abafumbo abatalina nkolagana ya nnamaddala kizibu okutuuka ku birungi.

Mu ngeri endala nammwe mwennyini kye kiseera okukomya okwejalabya n’okusaasaanya ensimbi mu bintu ebirekeka. Kino kijja kubayamba okufissa ssente  muzizze ku kwekulaakulanya.Naye bwe munaalemeramu looko y’okussa buli ssente gye mufuna mu bintu nga bino, mujja kusigala nga mwekwasa nga bwe waliwo omuntu abatambulirako.

Abakyala abafumbo mwongere okuyiiya wamu n’okutetenkanya mu ngeri ey’enjawulo. Ku mulembe guno buli mukazi mufumbo wandibadde obaako n’ekkubo erivaamu ensimbi lye weesibako. Okuyingiza ensimbi tekikwetaagisa kumala kuva waka. Ebintu bingi by’osobola okukolera awaka ate n’osinga n’oyo azitambulira.  

Mugguleewo n’essuula y’okutereka ku nsimbi ze mukola. Nga muyita mu kwerumya mutandikewo ensawo gye muterekamu ensimbi okumala ebbanga eggere. Ssente ez’ekika kino ze zijja okubatuusa ku nkulaakulana singa mufaayo okuziyiiyiza obulungi.

Amaka omutali nkolagana tegakulaakulana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kenzo 220x290

Kenzo alayidde obutaddamu kuyimbira...

Muzaata bwataneetondera sidda ku siteegi-Kenzo

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...