TOP

Temusosola mu mawanga

By Musasi Wa

Added 30th May 2013

NSABA Bannayuganda tukomye okusosola mu mawanga. Ffenna tuli Bannayuganda kye kisinga obukulu.

2013 5largeimg230 may 2013 102512750 703x422

 

 

 

NSABA Bannayuganda tukomye okusosola mu mawanga. Ffenna tuli Bannayuganda kye kisinga
obukulu.

Ku pulogulaamu z’abanoonya ez’enjawulo ogenda n’owulira omuntu aliko eggwanga ly’avumirira ng’agamba abantu baayo baamutama.

Enkola eyo si nnungi kuba naawe singa osanga omuntu ng’avuma okugeza Abaganda ng’agamba baamutama toba musanyufu.

Kiba kirungi kale oyogere amawanga g’oyagala wabula totandika kuvuma g’otayagala kuba nabo baba bawuliriza pulogulaamu.

Ate bw’oba onoonya omubeezi tekitegeeza nti omuntu ow’eggwanga ly’oyagala y’ataakubonyeebonye. Kisinziira ku mbeera z’omuntu gw’ofunye.

Okuvumirira amawanga kireeta empalana eziyinza okugenda nga zikula ate ne kituleetera obuzibu. Nsaba abakubiriza pulogulaamu ezo abantu abanoonya ababeezi bagezeeko okubawabula baleme kuvuma bantu b’amawanga malala.
Godfrey Kalule,
Busega.

Temusosola mu mawanga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...