TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okulwana ng’oli bwereere kiraga bizibu ebikwolekedde

Okulwana ng’oli bwereere kiraga bizibu ebikwolekedde

By Musasi Wa

Added 30th July 2014

KIMBUGWE yaloota ng’alwana ne kitaawe omuto kyokka nga bombi bali bwereere.

2014 7largeimg230 jul 2014 095058087 703x422




KIMBUGWE yaloota ng’alwana ne kitaawe omuto kyokka nga bombi bali bwereere. Kitegeeza ng’endooliito eziri mu famire yammwe bwe zinaatera okubatuusa ku kutting’ana singa temweddako.
******************************

LIVINGSTONE K e Najjanankumbi yaloota omukazi gwe yalonda ekkubo ng’azadde kyokka n’abulawo n’omwana we. Kitegeeza ebintu by’obadde tosuubira ebinaatera okukutuukako. Kirungi obigumire kubanga biyinza okubeera ebirungi oba ebibi.
***************************
MARY e Katosi yaloota ng’enkuba etonnya, ng’amazzi bwe gamuyiikira ku mutwe. Enkuba bw’eba yalimu okubwatuka, omuzira oba kibuyaga, kitegeeza bizibu ebiriku¬tuukako mu maaso. Naye bw’eba nga yali etonnya mu ngeri ennungi, ebyalibadde ebizibu bifuuka mikisa.
***************************
DEBORAH e Kireka aloota nnyo ng’alaba ebisaanyi ebingi ennyo. Kitegeeza nti waliwo omuntu anaatera okubaako ky’akutonera naye ng’obadde tokisuubira. Kirungi osanyuke naye nga teweemalaamu kubanga kandiba akatego gy’oli.
***************************
JULIET yaloose jjajja we eyafa nga mulwadde, kyokka ng’amusesemera. Ate oluvannyuma yasanze ayimiridde mu nsanafu naye nga tezimuluma. Kitegeeza ebizibu ebyolekedde omu ku bantu b’olubu lwo oba mukwano gwo naye nga naawe bikukwatako.
************************
TEREZA yaloota omu ku mikwano gye ng’amugamba nga bw’ajja okwawukana n’omwagalwa we. Kikulabula okwerinda vvulugu gw’onoosanga mu kutambula kwe weegumbulidde ennaku zino.
**************************
DAMALIE e Buswabulongo - Mityana yayawukana ne muganzi we kati emyaka mukaaga naye amuloota nnyo nga bali bombi, oluusi ng’amuwa ebyokulya ng’afukamidde. Kitegeeza nga gye yanobera bwe bitamugendera bulungi kati ng’ayiiya bya kudda.
********************************
YUDAYA e Masaka yaloose ng’akwata enseenene ennyingi. Ku ludda lw’abakazi ekirooto kino kitegeeza mizizo wakati waabwe n’abaami baabwe oba baganzi baabwe. Ekitegeeza abaalibaddeko omukolo gwe beesonyiwa okumala ennaku kubanga oyinza okufunirayo ebizibu.
*******************************
KIGONYA e Kireka yaloota nga bakwata enseenene ne muwala we kyokka nga buli gye bakwata agirya. Kitegeeza ng’akalombolombo k’ewammwe akaabalema okutuukiriza bwe katajja kukoma okuggyako nga mukatereezezza.
***************************
KIBIRANGO e Seeta yaloota ng’agoba obukolwa. Kiranga okubala n’okwaza emmere mu nnimiro yo.
***************************
FAITH e Busoga yaloota nga bamubbyeeko ebintu by’omu maka ge byonna so ng’enju yaleka agisibye era nga yadda nsibe. Kitegeeza kaddannyuma mu bintu by’okola nga tonnakiika mu bajjajja.
****************************
SK e Nansana yaloota abantu abaali batema n’okusomba embidde. Kitegeeza kukung’aana okw’essanyu oba okw’ennaku.
ZAAKAYO e Namugongo yaloota ng’asenguse okuva mu Ndeeba n’adda e Mulago. Kiba kirooto kya kufuna. Naye ebintu ebyo bw’otobifuna, olabira awo ng’omu ku b’olulyo lwo, mukwano gwo oba muliraanwa wo ng’afunye ebintu oba emikisa gy’abadde tasuubira kufuna.

***************************
NAMUSOKE yaloota ng’alaba kitaawe eyafa edda ng’asereka effumbiro lyabwe. Kino ekirooto kitegeeza luyombo n’abantu abalala. Oluvannyuma lw’ekirooto kino osaana weekuume omuntu akulumbagana ne bwe kiba nga kikuyitiriddeko tosaanye kuggwaamu bugumiikiriza. Waakiri tambula butambuzi nga tonyeze muntu yenna.
******************************

MIRIAM e Katosi yaloota atudde ku lwazi olugazi ennyo. Kitegeeza ng’omu ku mikwano gyo oba ow’olubu lwo bw’agenda okufuna ekyamaanyi nga yeeyambisa erinnya lyo. Ebyo byonna bwe bibaawo ggwe toyinza kukimanya ate naye tayinza kukubuulira, naye nga ky’afunye akifunye.
******************************
NAKATO e Mukono yaloota ng’asamira n’abantu abalala. Kiba kirooto kya mikisa. Kitegeeza nti ebiseera by’okufuniramu bye weetaaga bituuse. Omukisa gw’okufuna gwengedde. Obusente bw’olinawo busse mu bintu ebifuna byokka. Tandika oku¬kodowalira ssente zo, osobole okuzeeyambisa mu mukisa guno ogwengedde.
******************************
MUKASA ow’e Buloba yaloota ng’alaba omulenzi eyali yeebuga n’effumu. Kitegeeza bumalirivu. Olina okuba n’obumalirivu obulemera ku kintu ky’ogwanidde okukola bw’olaba nga kirimu abalala gwe batalaba.
***********************************
MAFUMU e Mityana yaloota ali n’abantu abasekula ebintu by’atategeera mu binu. Kitegeeza enkolagana yo ne baliraanwa bo ejja kubaamu okugootaana gye bujja. Fumba nnyo omutwe osobole okubeewala naye baleme kukitegeera. Ekyo bw’oba tookisobole, vaako awaka okyaleko.

Okulwana ng’oli bwereere kiraga bizibu ebikwolekedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...