TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja yagaana okulabirira bbebi gwe nnamuzaalira

Omusajja yagaana okulabirira bbebi gwe nnamuzaalira

By Musasi Wa

Added 4th June 2014

Omusajja gwe nnayagala ne mmuwa omutima gwange bwe nnamuzaalira yansuulawo n’andekera obuvunaany-izibwa okulabirira omwana era kati atuuse okunnema.

2014 6largeimg204 jun 2014 160310227 703x422

NZE Esther Nakigan­da mbeera Bbira.

Omusajja gwe nnayagala ne mmuwa omutima gwange bwe nnamuzaalira yansuulawo n’andekera obuvunaany­izibwa okulabirira omwana era kati atuuse okunnema.

Munnange ono yank­wana mbeera bw’omu nga naye abeera yekka ne twa­galana. Wabula teyantwala wuwe kubeera naye nga mukyala we.

 Twekyaliranga ng’olumu ajja ewange olu­lala nze ne ng’enda ewuwe era nga tuli basanyufu.

Olwokuba nnali mmwa­gala nnyo oluusi nagen­danga ewuwe ne mmalayo ebbanga eriwera.

 Waliwo lwe nnamalayo emyezi esatu era gino ngyevuma okutuusa olwaleero anti mwe nnafunira olubuto oluvuddeko omwana ey­atuleetera obutakkaanya.

Bwe nnafuna olubuto saamanyirawo okutuusa nga luwezezza emy­ezi esatu. Natya oku­gamba muganzi wange nga mmanyi nti ayinza okulwe­gaana kubanga ebbanga lyali litambudde.

 Naddayo mu muzigo gwange wabula nnamala ne mmugamba nga luwezezza emyezi ena yasooka kulwegaana wabula nnamunnyon­nyola embeera eyaliwo ne mmugonza n’alukkiriza. Nnasanyuka ng’alukkirizza kyokka nga simanyi big­enda kuddirira.

Nnajjanjaba olubuto ng’ampaayo obusente obu­tono ne ntoba ng’omukazi ne nneeyongererako oku­tuusa bwe nnazaala.

Bwe nnamala okuzaala eby’obuyambi yabiviirako ddala era omwana ambo­nyaabonyezza ne ntuuka n’okusibwa mu kkomera olw’okulemwa okumula­birira obulungi.

Omusajja yanviiramu ddala nga bwe mmusaba obuyambi bw’omwana tabumpa okutuusa bwe nnabivaako ne nnoonya ssente ne mmujjanjaba.

Wabula mu kiseera kino yali akonzibye,era kitaawe yamulabako nga tafaananika naye era yagaana okumpa obujjanjabi.

Poliisi yankwata ng’omwana agenda kufa olw’embeera gye yalimu ne bansiba kyokka kitaawe tebaa­munyega.

Nneevuma eky­andeetera oku­funa olubuto ne ntuuka okufuuka taata era maama w’omwana wange kyokka ng’omusajja gyali.

Omusajja yagaana okulabirira bbebi gwe nnamuzaalira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....