TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nnaakawasa abakazi basatu nga banoba

Nnaakawasa abakazi basatu nga banoba

By Musasi Wa

Added 24th November 2014

Ndi muwuulu si lwa kuba nti saagala kuwasa naye buli mukazi gwe nfuna andekawo. Nnaakawasa abakazi basatu naye bagenda.

2014 11largeimg224 nov 2014 103653770 703x422

NZE Stephen Lubowa. Mbeera Busega Kibumbiro. Ndi muwuulu si lwa kuba nti saagala kuwasa naye buli mukazi gwe nfuna andekawo.

Nnaakawasa abakazi basatu naye bagenda. Ndi musajja mukozi wadde sinnaba kufuna mulimu gwa nkalakkalira naye nga nneeyiiya era buli ekijja nkikola era nfunayo obusente obutonotono.

Omukazi gwe nnasooka okuwasa twamala naye emyaka ebiri gyokka n’andekawo. Ono yakeera
lumu n’asibamu ebibye n’angamba nti talina gafa nnaku.

Nnali njagala omukazi ono era wadde nnali sifuna nnyo naye nga nfuba okulaba nga mufunira ekyokulya era teyasula ku njala.

Ono bwe yagenda ne mmanya nti kirabika osanga yali tanjagala kwe kusooka ne mpisaawo akaseera nenfuna mwana muwala omulala.

Ono weyajjira’ nnali nfunye akalimu nga nkola ku kigobero kyokka ebyembi nakolayo akabanga katono ekigobero ne bakiggala akalimu ne kaggwawo.

Omukazi olwawulira nti sikyalina mulimu yasibirawo ebibye naye nandekawo. Okumanya kino kyannuma nnyo naye bwe yaliagenda yang’amba kimu nti  ssebo, nze saagala musajja mwavu kajjira yeeyiya.

Era ekyanzijira mu bwongo namanya nti kirabika n’ono yali tanjagala kwe kufuna omulala.

Ono namanya nti bambi anjagala kubanga ate ye we yajjira mu kiseera ekyo nnali sinnafuna mulimu mulala ne tubeerawo nga bwe nneeyiiya naye n’aguma.

Kye saamanya nti mwana muwala ono yali abeera nange mu mbeera eno naye nga yali alinayo abasajja abalala be yali aganza. Kino we nakitegeerera, nava awaka ne ngenda okuyiiya
naye ng’enda okukomawo ng’afumbye nnyama.

Saasooka kukitya ogwasooka naye nagenda okulaba ng’efuuse nkola kwe kumubuuza nti owange bye
tulya biva wa. Haaa… nakuba jinja mu njuki kubanga omukazi yantabukira nannangira buli kintu nalyoka ang’amba nti okubeera nange yali annyamba buyambi kubanga ndi mwavu nnyo era yatambulirawo
n’anviira. Kino bwe kyatuukawo we nakkiririza nti wamma abakazi tebaagala musajja mwavu.

Nnaakawasa abakazi basatu nga banoba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Malawo 220x290

Agula emmaali y’omufu mu bukyamu...

WADDE okufa tteeka naye kino tekikugaana kukola nnyo obeereko ebyobugagga by’olekera abantu bo ssinga Katonda abeera...

Ssenga1 220x290

Njagala kutandika bulamu

NNINA siriimu era mmaze naye emyaka egiwera. Baze yafa ne nsigala n’abaana naye kati mpulira nnina okufuna omusajja...

Img20190117wa0028 220x290

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka...

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....