TOP
  • Home
  • Ebituuse
  • Omusajja eyanzigya e Rwanda agula bamalaaya n’abaleeta mu nju

Omusajja eyanzigya e Rwanda agula bamalaaya n’abaleeta mu nju

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2016

Omusajja eyanzigya e Rwanda agula bamalaaya n’abaleeta mu nju

Yu1 703x422

Nze Faswezih Wembabazi, 32, mbeera Ssembabule. Omusajja ono namufuna mbeera wa jjajjange e Rwanda  mu 2003 ne tutandika okwagalana.

Bwe yamala okunfunyisa olubuto n’anzirusa e Rwanda n’andeeta mu Uganda ne tutandika obufumbo bwaffe nga tubeera Kibuye.

Mu kikomera mwe yanteeka mwalimu ne baganda be nga nabo mwe bapangisa era enkolagana yaffe yali  nnungi mu ntandikwa.

Emyaka mwenda gye maze n’omusajja ono, anjooze mu buli kimu omubadde okwenda n’atuuka n’okugula bamalaaya ne yeegatta nabo mu nnyumba nga nange mwendi.

Lumu yandeka n’agenda e Rwanda nga tambuulidde wadde okundekera ekintu kyonna olwo ne tudda mu kusabiriza baganda be ez’emmere.

Naye nabo ng’olumu batugobaganya ate nga bwe baba batuwadde, batuwa 2,000/- nga kwe njiiyiza n’abaana mukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda