TOP

Eyanfunira omulimu mufiirako

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2020

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi ly’obuwanguzi bwange lyeyongera olw’ebibala by’essanyu bye yajja nabyo mu bulamu bwange.

Sjpgweb 703x422

Innocent Katusiime ng'annyonnyola engeri omuwala gy'amwagaddemu.

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi ly’obuwanguzi bwange lyeyongera olw’ebibala by’essanyu bye yajja nabyo mu bulamu bwange.

 Ensonga z’omukwano nazitandika nkyali bwe nneegomba omuwala gwe twasomanga naye kyokka ng’oluusi ntya n’okumutuukirira olw’embeera y’obwavu gye nnalimu.

Wabula ng’omukwano bwe gutasosola mwavu, nange nava ddaaki ne nsiba omutima ne mulumba ne mutegeeza nga bwe nnali mwagala era eno ye yali entandikwa yange okumuggulako omukwano.

Nga wayise akabanga, Kyalisiima, yannyanukula wabula n’antegeeza nga bwe yali yeetaaga akadde okusooka okunneetegereza. Olwanziramu bwatyo ne mmanya nti ekirooto kyange kyali kituukiridde.

Nga wayise ebbanga, nasalawo ntegeeze munnange ku mbeera yange naddala mu bya ssente aleme kulowooza nti agudde ku muloodi.

Bwe yamanya bwe nnali nnyimiridde, twatandika okwagalana era mu mukwano gwe twalina, we nnamutegeereza nga bwe nnali sirina mulimu naye nga nnali njagala okukola. 

Munnange yasalawo okuntwala ewa kitaawe n’asabirayo omulimu olwo nange ne ntandika okwefunira ku ssente.

Ebbanga lye nnamala nga nkolera ssezaala wange, nayiga bingi era nga bye binnyambye okweyimirizaawo era nnenyumiriza mu kuwasa mu ffamire enkozi bwetyo. 

Mu kiseera kino tulina omwana naye mu buli kye nkola, munnange ambeereddewo siyinza kumwerabira era tayinza kunva mu birowoozo wadde ng’ali mu kyalo ate nze ndi Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...