TOP

Uganda yeetaaga okutendeka 3000 mu byamafuta

By Musasi Wa

Added 11th March 2012

Bya TERAH KAAYA NGA Uganda yeetegekera okutandika okusima amafuta, kyetaagisa okuba n’abakugu abasobola okukola ku ky’okusima n’okulongoosa amafuta g’eggwanga.

2012 3largeimg211 mar 2012 092526793 703x422

Bya TERAH KAAYA NGA Uganda yeetegekera okutandika okusima amafuta, kyetaagisa okuba n’abakugu abasobola okukola ku ky’okusima n’okulongoosa amafuta g’eggwanga.

Kino okukituukako, waalina okutandikibwawo ettendekero abantu bano mwe balina okuyigira byonna okusinga okupangisa abantu okuva wabweru w’eggwanga.

Akulira ekitongole ekya Uganda Industrial Research Institute, Prof. Charles Kwesiga agamba nti kino kitandikiddwako oluvannyuma lw’okuteekawo ettendekero erya Uganda Petroleum Institute.

“Twatandikawo ettendekero lino mu disitulikiti y’e Kigumba era nga ly’ettendekero erisoose mu Uganda okusomesa abayizi ku byamafuta. Twaggulawo nga March 20, 2010 nga twatandika n’abayizi 28.

Kino kyaleetebwawo ensonga eziwerako nti okutandika ettendekero nga lino oteekwa okuba n’ekifo ekimala, ebyuma ebyetaagisa abayizi okwegezesezaamu, ensimbi ezibalabirira n’okubabeezaawo.

Kyategeezeddwa nti Uganda yeetaaga abantu 3000 abatendeke mu byamafuta abataliiwo kati. Tetwayagala kukozesa basomesa kuva mu nsi ndala era nga kino okukituukako twalina okusunsula mu basomesa abaffe wano ne tubazzaayo ne bongera okubangulwa mu bye bagenda okusomesa era kati be tulina bali ku mutindo gwa nsi yonna kubanga n’ebbaluwa abayizi baffe ze baweebwa nga bafulumye za mutindo gwa nsi yonna.

Tutwala bayizi abaayita PCM era n’abayizi abalina ebisaanyizo okugenda mu yunivasite newankubaddde baweereddwaayo ebifo, basobola okujja ne bayingizibwa ne basoma ebyamafuta.

Omuyizi asooka kugezesebwa okukakasa obaddala ebigezo bya siniya eyoomukaaga yabiyitira ddala ng’akozesezza mutwe gwe era nti eggwanga lijja kumuganyulwamu bw’anaaba afulumye.

Gavumenti buli mwaka ettendekero lino eriwa obuwumbi 2 okuliddukanya era nga tusuubira essaawa yonna ejja kuzongerako okusinziira ku bwetaavu.

BATENDEKEBWA EMYAKA EBIRI

Abayizi bano bamala emyaka ebiri nga batendekebwa, oluvannyuma baweerezebwa mu nsi endala okwongera okubangulwa n’okugezesebwa era nga kati twakoze endagaano ne gavumenti ya Trinidad and Tobago gye tugenda okusindika abayizi baffe abanaatera okumaliriza.

Tubadde tukolaganira wamu ne gavumenti ya Norway ng’abamu ku bayizi baffe tubasindika mu kitongole ekya RKK, ku luno bagenda kwegerezaamu mu ttendekero erya Kenson School of Production Techinology Ltd okumala emyezi mukaaga.

BABANGULWA MU BYAMASANNYALAZE

Abayizi bano mu myaka ebiri basomesebwa amasomo omuli okusima amafuta, okukola ku byuma ebisima amafuta, okuyunga n’okwokya ebyuma ebikozesebwa ku mafuta, ebyamasannyalaze n’amazzi kuba byonna bigendera wamu.

Ebyobulamu, obutonde bw’ensi n’okwekuuma bikwatibwako wamu n’obutale n’engeri y’okubuddukanya n’amasomo amalala mangi. Bino byonna biggweera mu myaka ebiri gyokka era omuyizi bw’afuluma aweebwa Dipuloma.

DIPULOMA YA DDAALA LYA NSI YONNA

Dipuloma ye naddala bw’abeera asinze kusimba makanda ku kya kwokya byuma etuukanira ddala n’eyekitongole ekya American Elding Society kwe kulaba nti tulina abayizi okubagezeseza mu nsi ezirina ebisaanyizo ebituukana n’omutindo gw’ensi yonna.

Omuyizi ateekeddwa okufuluma ng’ali ku ddaala ery’ensi yonna era nga bwe kuba kuvuganya asobolera ddala okuvuganya n’abayizi abalala okuva mu nsi ezirina amatendekero ku byamafuta.

Omuwendo gw’abayizi gukyali mutono naye mu kiseera kino gwe tusobola, okusinziira ku nsimbi gavumenti z’etuwa naye nga mu ntegeka twagala obusobozi mu nsimbi.” bw’agamba.

Agamba nti okuyingiza ab’omwaka guno kukyali mu lusuubo kuba gavumenti tennabawa ssente nti naye ekifo n’ebikozesebwa bwe binaafunika bajja kuyingiza abayizi 200 kubanga tubeetaaga nga eggwanga okusinziira ku mirimu egiriwo.

Uganda yeetaaga okutendeka 3000 mu byamafuta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta