Bya Faith Nakanwagi
ABAZADDE abasibira omwana ow’emyaka esatu mu nju ne bagenda mu birabo by’omwenge gye bakeesezza obudde, abakulembeze b’ekitundu babatabukidde.
Kansala Andrew Eyiru akiikirira Bweyogerere ye yayingidde mu nsonga z’omwana ono abadde atandise okugongobala.
Bazadde be Rose Kaswiiti ne Willy Mukwasi batuuze b’e Bweyogerere -Kazinga. Kansala yasazeewo omwana okumubaggyako asooke afune amulabirira n’oluvannyuma amubaddize.
Wabula yabawadde obukwakkulizo nti singa banaddamu okumulagajjalira baakuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.
Batabukidde abaleka ebbujje mu nju ne basula mu kirabo