Bya VIVIEN NAKITENDE
OMUKAZI aloopye bba ku poliisi ng’amulanga okutulugunya mutabani waabwe n’ayita we yandikomye.
Fred Njakaasi omutuuze w’e Mutundwe ye yaggaliddwa ku poliisi e Nateete. Yavunaaniddwa kutulugunya Derrick Kasagga 10.
Kasagga yalumirizza kitaawe okumusiba amagulu n’emikono okumala olunaku lulamba. Yategeezezza nti yamulaze kumusanga ng’alya ebicaafu.
Kitaawe aggaliddwa lwa kumutulugunya