TOP

Abayindi baduukiridde abaana Bannauganda

By Musasi Wa

Added 15th October 2012

ABAANA Bannayuganda 20 abalwadde b’emitima abava mu maka agatesobola bajuniddwa bwe babatutte e Buyindi okulongosebwa.

Bya Eria Luyimbazi
ABAANA Bannayuganda 20 abalwadde b’emitima abava mu maka agatesobola bajuniddwa bwe babatutte e Buyindi okulongosebwa.


Kawefube w’okubalongoosa awomeddwamu omutwe, ekibiina ekigatta abayindi abakolera mu Uganda, ekya Indian Association of Uganda ng’ekisasulidde obubalongoosa.


Ssentebe w’ekibiina kino Rajesh Chaplot yagambye nti okutwala abaana abalwadde b’emitima okulongosebwa bagenderedde kubayamba nadala abo abava mu maka agateesobola okusobola okusasulira obujanjabi.
 

Yagambye nti ekibiina kino ekyasonze ssente okuva mu Bayindi abakolera mu ggwanga eziwera obukadde 400 nga kuno kwekuli okubatambuza, okubasuza n’okubalongoosa n’okubalisa nga balu e Buyindi.


Yategezezza nti okulonda abaana abanalongosebwa bazooka kufuna okusaba mu bazadde abawera wabula n’ebalondamu abali mu mbeera embi oluvanyuma lw’okusooka okwekenenya amabaluwa agava mu basawo.
 

Yagambye nti okulongoosa abaana bano abali wansi w’emyaka 14 kugenda ku beera mu ddwaliro lya Narayan Hrudalaya Banglore ng’ekibinja ky’abaana 10 ekigenda okulongosebwa kisitula ku Lwokubiri ate ekirala kisitule nga October 25, 2012.


Abamu ku baana abagenda e Buyindi okulongoosebwa emitima ng'abali n'abayindi ab'egattira mu kibiina kya Indian Association of Uganda abawaddeyo ssente z'okubalongoosa emitima. Ebifanaanyi byonna bya Eria Luyimbaazi.


Abaana abangenda okulongosebwa kuliko Joweria Lugolobi Ndagire, Hasifa Namawejje, Ibrahim Mwebe, Titus Omoding, Abdul Rahaman Mohammed, Rehema Sambula, Asia Nakayima Kisambira, Jose Maria Jala, Desire Nakito Lwanga.

Abalala kuliko Shatra Aluka, Christine Namutebi, Jeane Mulika, Paul Njawuzi, Jeremiah Kasirye, Gideo Muhwezi, Tronax Namutebi, Levi Oumo, Precious Arinaitwe, Obvious Babirye ne Jeremiah Mutumba nga ssente z’okubatwala zasasuliddwa amakampuni g’Abayndi agali mu ggwanga


 

Abayindi baduukiridde abaana Bannauganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere