TOP

Abadde atulugunya ebbuje akwatiddwa.

By Musasi Wa

Added 18th October 2012

Abatuuze be Namuwongo Yoka zooni bavudde mu mbeera ne balumba mutuuze munaabwe olw'okutulugunya omwana .

Bya Moses Nsubuga


Abatuuze be Namuwongo Yoka zooni bavudde mu mbeera ne balumba mutuuze munaabwe olw'okutulugunya omwana. Omwana ono eyategerekeseeko erya Ronald 9 asangiddwa ku makya ga leero ng’aggaliddwa mu nnyumba era ng’ali mu mbeera mbi ddala.

Maama w’omwana Rose Night Acanjo akola ogw’okuwereza ku bizimbe mu kwewozaako agambye ni omwana ssi mulwadde oba era tazingamye lwa kulekebwawo, wabula aliko eby’ewaabwe ebimutawaanaya kyeyava asalawo okumuggalaira mu nnyumba.

“Omwana oyo yansobera dda,neebuuzaako ne kubakulu ne bangamba nti alabika tali yekka wandibaawo ekimunywa” Achanjo bweyayongeddeko.

Ye ssentebe w'e kitundu Fred Mwesigwa agambye nti omukyala ono Rose Achanjo abadde amaze ebbanga nga bamulabula naye nga tawulira. Era nti amuleka mu nju nga tamuwadde kyakulya.

Achanjo agenda kuvuunanibwa lwa kulagajjalira mwana gwazaala.
 

Abadde atulugunya ebbuje akwatiddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga