TOP

Omwana atulugunyizibwa akwasizza kitaawe

By Musasi Wa

Added 23rd October 2012

POLIISI e Kalungu ekutte omusajja agambibwa okukola ettima ku mwana we n’amusiba emikono katono agikutuleko ng’amulanga okumeketa ku binyeebwa bye eby’ensigo.

Bya S. BAAGALAYINA
POLIISI e Kalungu ekutte omusajja agambibwa okukola ettima ku mwana we n’amusiba emikono katono agikutuleko ng’amulanga okumeketa ku binyeebwa bye eby’ensigo.

Eyakwatiddwa ye Francis Wasswa ow’emyaka 38 ng’ogumukwasizza gwe gw’okutulugunya omwana we Junior Kizinga ow’emyaka 9 n’atuuka n’okumusiba akandooya ng’akozesa enkoba z’eggaali.

Mu kiseera ky’ekimu n’omukazi Aisha Nakayemba eyakwatibwa olw’okwokya omwana wa mukulu we nga yeeyambisa ppaasi y’amasannyalaze gumusse mu vvi, omulamuzi Elijah Musolo owa kkooti ento e Kalungu n’amuwa ekibonerezo kya kusibwa mu kkomera emyezi 24.

Avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana ku poliisi e Kalungu, Gladys Nassozi yategeezezza nti Wasswa okukwatibwa kyaddiridde abazirakisa okubatemyako ku mwana atulugunyizibwa.

“Poliisi yaffe ey’omu kabuga k’e Bugomola e Lwabenge olwafunye amawulire gano yasitukiddemu n’ezuula omwana ono n’oluvannyuma n’ekwata kitaawe Wasswa n’aleetebwa ku kitebe w’akuumirwa,” Nassozi bw’annyonnyola.

Ku Poliisi omwana alumirizza kitaawe nti yamusibye emikono ng’agigasse n’amagulu n’agimusuzaako nga yasoose kumukuba kibooko omubiri gwonna olw’okuba yamekese ku binyeebwa.

Omwana ono emikono gizimbye nga takyasobola kukwasa bibatu kweriisa ng’ate omubiri gwonna gujjudde enkwagulo n’ebikuyiro by’emiggo ng’awasibiddwa enkoba waababuse nga we bookezzaako n’omuliro.

Wasswa yekiririzza nti omwana kituufu yamusibye kyokka ne yeesammula eky’okumusibisa enkoba z’eggaali ng’agamba nti byabadde byayi by’ebitooke.

Kino kiwakanyiziddwa nnyo abapoliisi n’abantu abasing’aniddwa ku poliisi e Kalungu abeekebezze omwana ono nga yaakatuusibwayo nti ebyayi tebiyinza kumyumyuula obwenkanidde awo n’atuuka n’okubabuukirira.

 

Omwana atulugunyizibwa akwasizza kitaawe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...