TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Omusiisi wa capati olwamumma omukwano n'ayokya muwala wange butto'

'Omusiisi wa capati olwamumma omukwano n'ayokya muwala wange butto'

Added 27th October 2012

RHAMULA Mulimira,21, alina abaana basatu. Wabula mu bulamu talyerabira basajja abatatya kukwana bakazi bafumbo, omuli n'ono amusudde ku kyokya.

Bya GLADYS KALIBBALA
RHAMULA Mulimira,21, alina abaana basatu. Wabula mu bulamu talyerabira basajja abatatya kukwana bakazi bafumbo, omuli n'ono amusudde ku kyokya.

Ali Mulimira, 28, bba wa Rhamula, muvuzi wa sipensulo okuliraana essundiro ly'amafuta erya Total ewa Bakuli era batuuze b'e lubaga mu Wagaba Zooni.

We twogerera nga bagenda kuweza mwezi mulamba mu ddwaaliro lya Saidina Abubaker Clinic e Nakulabye nga bajjanjaba muwala waabwe Saluwah Khairat ow'emyaka 5 gwe baayokezza butto.

Saluwah mu ddobozi lye alumiriza nti Richard Imanihiro, omusiisi wa kabalagala ye yamuyiira butto mu bugenderevu gwe yaggya ku ssigiri.

SALUWAH BY'AGAMBA
Nafuluma mu nnyumba ngankutte ekitabo nkitwalire taataalabe bwe nnali nkoze obulungi ku ssomero (asomera mu At – Takuwa Nursery School).

Mu lukuubo we nassanga muliranwa waffe Richard ne nneekoona ku kkalaayi ya butto gye yali addusa ng'eva ku ssigiri. Okusooka buto yansammukira busammukizi wadde yali ayokya nnyo, kyokka bwe naleekaana nga bwe mpita maama, omusajja ono n'anjiira butto yenna eyali asigadde mu kkalaayi. Obulumi kata bunzite era sijjukira byaddirira!

RHAMULA MULIMIRA
Zaali ssaawa nga 10:00 ez'olweggulo nga September 25 , 2012, nnali njoza ngoye ne mpulira omwana wange eyali yaakeesogga enju ng'alajaana.

Engoye nabuuka mbuuke ne nziruka okumutaasa. Obutto bwayingira mu lugoye ne lumwetippako, era nalwana nalwo okulumuggyamu nsobole okumuyiwako ssukaali kubanga gwe nalabanga bateeka ku bayidde omuliro.

Nnina omwana ayonka, n'ow'emyaka ebiri kyokka bonna nnabaleka awo nsobole okutaasa obulamu bw'ono eyali ayidde. Baze wa bigambo bitono nnyo era nze nabuuza Richard ekimukozesezza kino ku mwana wange kuba ate eggulo limu twali twayombyemu.

Richard yagamba nti kaali kabenje. Bwe twabuuzaako ku wa Poliisi omu atubuulire ekiddako yatugamba nti engeri Richard gye yeetonze tubikomye awo wabula ajjanjabe omwana waffe!

Kyokka mu ddwaaliro yajjayo oluvannyuma lw'ennaku ssatu n'aleeta eccupa ya soda era teyanyega kirala n'addayo.
Emirundi egyaddako ebiri yaleeta emitwalo 10 nga mmaze kuzimubeeba n'okumutegeeza nti omwana alibubi ddala.

Omwana abadde mu bulumi bungi nnyo, bugenda bukendeera bukendeezi, omusawo amukolako ava ddwaaliro ddene era buli lw'addamu okubikka ebiwundu asaba 40,000/-.

Kuno kw'ogatta ez'eddwaaliro we tuli abatuwadde eddagala kati mwezi mulamba ng'ate tebannatubalira ze batubanja.
Nawalirizibwa okwekubira enduulu ku poliisi y'e Lubaga oluvannyuma lw'ennaku 10, kubanga Richard yali adduse we yasulanga. Poliisi egamba nti emuyigga kyokka n'ekyalo gye yaddukira tewali amanyiiyo. Ssente tezirabika, alina ku buyambi essimu eri 0781460944


Saluwah ng'ali ku ndiri mu ddwaaliro e Nakulabye, ebifaananyi byonna bya Gladys Kalibbala.

OBA LWAKUBA NNAMUGAANA!
Richard yajja ne banne babiri ne bapangisa ku muzigo ogutuliraanye. Mu wiiki emu yali atandise
okunkwana wadde nga yandabanga nti ndi lubuto!

Abasatu bano basula mu muzigo gumu ng'era temuli nnyo bikozesebwa okuggyako amakalaayi gaabwe agasiika kabalagala nobulobo mwe bamutembeeyeza mu kibuga.

Bwe namutegeeza nti ndi mufumbo yanziramu nti 'tebabba mu bifulukwa' naye ne nneerema.

Okuva olwo enkolagana y'emiriraano gyaffe n'eba mbi. Bwe nabitegeeza baze yansaba abantu bwe batyo mbeesonyiwe.
Abalenzi bano bwe baayongera okwolesa obuseegu, kyampaliriza okuloopa ewa nnannyini mayumba n'asuubiza okubagoba.

Kino nakyo kyatwongera obutategeeragana. Richard yambuuza nti obuyinza nnabuggya wa obubagobya ku nnyumba? Baaleetanga abawala ne beegatta nabo nga tebaggaddeewo.

Bwe baava awo ne batandika okuyigiriza abaana abato empisa embi, nze nnasanga katabani kange ak'emyaka ebiri nga bakeebasizza ku kawala ka muliranwa ng'eno bwe bakuba enduulu nti 'ono omwana ajja kuba kafulu!'
 

''Omusiisi wa capati olwamumma omukwano n''ayokya muwala wange butto''

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...

Ab'ekkanisa ya Shincheonji ...

Ab'ekkanisa ya Shincheonji baweddeyo omusaayi okutaasa Bannnaabwe okirwadde kya Corona

Abamu ku batuuze ku mayumba gaabwe agali wakati mu mazzi ku mwalo gw’e Kiribairya. Ebif: HENRY NSUBUGA

Ab'e Buyende bakaaba lwa nn...

Abatuuze abawerera ddala okuva ku myalo egy’enjawulo egyetoolodde ennyanja Kyoga mu disitulikiti y’e Buyende beekubidde...

Omusuubuzi mu Kikuubo yeeky...

OMUSUUBUZI mu Kikuubo anyiize n'aleega ekiso afumite owa KCCA abadde alemedde ku mmaali ye kyokka ababaddewo ne...

Poliisi yeezoobye n'aba ake...

Bino bibaddewo olwaleero(Lwakusatu ku makya) abasuubuzi abakulembeddwa,ssentebe w'ekibiina kino Godfrey Katongole...