TOP

Asobezza ku mwana wa mmwanyina n’amuwa obutwa

By Musasi Wa

Added 28th October 2012

POLIISI y’e Bulenga mu Wakiso ekutte omusajja agambibwa okusobya ku muwala wa mwannyina n’oluvannyuma n’amuwa obutwa

Bya JOB NANTAKIIKA

POLIISI y’e Bulenga mu Wakiso ekutte omusajja agambibwa okusobya ku muwala wa mwannyina n’oluvannyuma n’amuwa obutwa ng’agenderera okumutta, mwannyina aleme kutegeera.

Robert Golooba 29 omutuuze w’e Bulenga mu Ggogonya zooni ye yakwatiddwa nga kigambibwa nti abadde amaze ebbanga ng’asobya ku muwalawe (amannya gakisiddwa), ng’okukwatibwa kyaddiridde nnyina w’omwana Annet Nassolo okuloopa ku Poliisi e Bulenga nti muwala we yabula.

Oluvannyuma Nassolo yatemezebbwako abatuuze nti muwalawe yalabiddwaako mu nju ya kojjaawe Golooba naye n’abuulira Poliisi eyagenze n’ekwata Golooba eyasoose okwegaana.

Nassolo yasabye Poliisi okuta mwannyina Golooba ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde kyokka ekiro kw’olwo omwana n’asangibwa mu kasitoowa ng’asuuliddwa omwo ng’azirise.

“Nayise baliraanwa ekiro ne bajja nga muwala wange alinga omufu era ne bannyamba okumutwala mu ddwaaliro e Lubaga gye baamujjanjabidde okusobola okudda engulu,” Nassolo bwe yategeezezza.

Omwana yategeezezza nti yasembyeyo kunywa mazzi agaamuweereddwa kojjaawe Goloba ku Lwokutaano ekiro nti naye okuddayo okutegeera ng’ali mu ddwaaliro. Yayongeddeko nti kojja we Goloba abadde amusobyako.

Nasolo yategeezezza nti guno gubadde mulundi gwakubiri omwana okubula ng’oluvannyuma alabikira wa kojjaawe ono.

“Omulundi ogwasooka yambulako naye nagenda okulaba nga Golooba amukomyawo ku ssaawa 4:00 ez’ekiro”.

Golooba yategeezezza nti tayagalangako muwalawe ono, ekizibu kiri nti Nassolo abadde atabuka ne muwalawe olwo omwana n’addukira ewuwe kuba amwagala nnyo.

Akola ku nsonga zino ku Poliisi e Bulenga, Nakamya yategeezezza nti Goloba agguddwaako ogw’okuganza owooluganda lwe ku fayiro nnnamba SD/22/31/8/12.
 

Asobezza ku mwana wa mmwanyina n’amuwa obutwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.