TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba LC e Kawempe bazudde abaana be baalese mu nnyumba

Aba LC e Kawempe bazudde abaana be baalese mu nnyumba

By Musasi Wa

Added 11th November 2012

AB’AKAKIIKO ka LCI e Kazo mu CentralZooni bazudde abaana babiri mu nnyumba nga baboyaana oluvannyuma lwa nnyaabwe okubasuulawo n’adduka nga tamanyiddwa gye yalaze

2012 11largeimg211 nov 2012 125035130 703x422

Bya Sarah Zawedde


AB’AKAKIIKO ka LCI e Kazo mu CentralZooni bazudde abaana babiri mu nnyumba nga baboyaana oluvannyuma lwa nnyaabwe okubasuulawo n’adduka nga tamanyiddwa gye yalaze

Abaana bano okuli owa wiiki ebbiri nga muwala n’omulenzi wa myezi mwenda baakukunuddwa mu muzigo ku ssaawa nga 3:00 ez’oku makya, nnyaabwe mwe yabalese nga bakaaba.

Baliraanwa baabwe be baatuukiridde ab’akakiiko era akulira ebyokwerinda, Bogere Pakakya n’agenda mu muzigo oguli ku nnyumba za Halima Nakisitu mwe baabadde.

Abatuuze baategeezezza nti be babadde bawa abaana bano emmere okuva ku Ssande kuba nnyaabwe yabalekaawo so nga kitaabwe Kibuuka omuvuzi wa bodaboda abaleka mu nnyumba n’agenda okukola ku Kaleerwe.

Abaana baatwaliddwa ku poliisi y’e Kawempe gye yagguddewo omusango gw’okusuulawo baana ku fayiro SD: 38/23/10/12.

 

 

Aba LC e Kawempe bazudde abaana be baalese mu nnyumba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.