TOP

Yaaya eyatulugunya omwana gamwesibye mu kkooti

By Musasi Wa

Added 12th December 2014

OMUKOZI eyatulugunya omwana wa mukama we ategeezezza kkooti nti ekyamukubisa omwana bwali busungu ng’ayagala kwesasuza bazadde b’omwana abaali bamukuba entakera.

2014 12largeimg212 dec 2014 161934780 703x422

Bya ALICE NAMUTEBI


OMUKOZI eyatulugunya omwana wa mukama we ategeezezza kkooti nti ekyamukubisa omwana bwali busungu ng’ayagala kwesasuza bazadde b’omwana abaali bamukuba entakera.

“Maama w’omwana Angella Kamanzi abadde antulugunya nnyo nga bw’aba agenda ku mulimu asooka kunkuba awatali nsonga yonna.

Nange nnalaba kimpitiriddeko ate nga nsiiba n’omwana Arnella Kamanzi kwe kumumalirako obusungu bwonna nabo bawulire engeri gye kirumamu,” omukozi Jolly Tumuhirwe bw’ategeezezza kkooti.

Ayongeddeko nti lumu mukama wange yangamba mmulongooseze engatto ku makya kyokka mba ntandise n’akwata omuggo n’ankuba. Obusungu bwankwata bwonna ne mbumalira ku mwana naye nsaba munsonyiwe.’’

Bino byonna Tumuhirwe okubyogera abadde ayanukula abazadde b’omwana Eric ne Angella Kamanzi abaamubuuzizza lwaki yakuba omwana waabwe ataalina musango kyokka nga baali bamuwa buli kalungi konna k’ayagala.

Ba Kamanzi

Tumuhiirwe yasoose kusirika nga eby’okubaddamu bimubuze naye oluvannyuma lw’eddakiika 2 n’ayogeza obusungu nti nange nnali nkooye okumbonyabonya.

Ebigambo bya Tumuhirwe byatabudde abantu abaabadde mu kkooti ya Buganda Road ng’ekubyeko bugule ne batandika okwesooza era n’omulamuzi Lillian Buchana n’alemererwa okumuwa ekibonerezo ku ssaawa eyo.

Bino byonna nga tebinnabaawo, munamateeka wa Tumuhirwe, Radislus Rwakafuzi yasoose kutegeeza mulamuzi nti Tumuhirwe amulagidde asabe ekisonyiwo era bamusibeyo emyaka mitono asobole okufumbirwa era azaale ku baana abalage omukwano gw’atasobodde kulaga Arnella.

Rwakafuzi yagasseeko nti Tumuhirwe aboneredde era agenda kubeera mukwano gwa baana ng’abayigiriza empisa ssaako n’okwagala abantu.

Wabula kati Tumuhirwe ayolekedde okusibwa ebbanga eritasukka myaka 5 oluvannyuma lw’okumuggyako omusango gw’okutulugunya ne bamuggulako ogw’okukuba omwana Angella Kamanzi n’amutuusaako obuvune era nagwo agukkiriza.

Omwana akyalogootana

Taata w’omwana Eric Kamanzi ategeezezza kkooti nti bukyanga muwala we atulugunyizibwa, buli lwe yebaaka alogootana nga bamukuba era nga ne bw’aba yeebase asisimuka nga yekanga.

Omwana Arnella eyatulugunyizibwa

Omuwaabi wa Gavumenti, Lino Anguzu ategeezezza omulamuzi Buchana nti Tumuhirwe yali yakaweebwa omulimu mu maka ga ba Kamanzi era nga tannakolerayo mwezi.

Tumuhirwe asuubirwa okuweebwa ekibonerezo ku Mmande ya wiiki ejja.

Ebirala ku Tumuhirwe

Omukozi eyatulugunya omwana bamugguddeko gwa kugezaako kutta

Yaaya eyatulugunya omwana gamwesibye mu kkooti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....