TOP

Asobezza ku mwana n’amutta

By Musasi Wa

Added 18th January 2015

OMUSAJJA abadde yeeyita omukozi wa KCCA e Ndeeba n’e Kabowa awambye omwana ow’emyaka omukaaga n’amusobyako n’oluvannyuma n’amutuga.

2015 1largeimg218 jan 2015 093945573 703x422


Bya ISMAIL DDAMBA

OMUSAJJA abadde yeeyita omukozi wa KCCA e Ndeeba n’e Kabowa awambye omwana ow’emyaka omukaaga n’amusobyako n’oluvannyuma n’amutuga.

Magargret Birungi muliraanwa wa Jackson Kayanja ng’ono ye kitaawe w’omwana Evelyn Nakate eyattidwa agamba nti, omusajja ono babadde bamumanyiiko erinnya limu lya Luwagga era abadde agenda ku byalo bino n’abalagira okulongoosa awaka era bw’amala n’agenda.

Oluusi abadde akwata abo abakyafu n’abaggyako ssente oluvannyuma lw’okubatiisatiisa okubatwala mu kkomera kubanga we basula oba we bakolera wajama.

Ku Mmande ya wiiki eno yagenda mu Kironde Zooni e Kabowa n’akola nga bulijjo bw’atera okukola oluvannyuma n’akwata omwana ono Nakate ku mukono ne bagenda bonna kyokka baliraanwa tebaategeera gye yali amutwala.

Maama w’omwana ono Pross Nalwadda agamba nti, mu kiseera we baawambira muwalawe yali agenze mu katale naye agenda okudda ng’omwana we tamulabako.

Baliraanwa baamugamba nti, omwana agenze n’omusajja ayeeyita omukozi wa KCCA kyokka ne bamulinda nga buteerere. Baatandika okumunoonya ne bategeeza n’abakakiiko ka Kironde nti muwalawe abuze.

Baalanga ku bizindaalo b’ekyalo n’okugenda ku poliisi n’etandika okunoonyereza.
Ku Lwokuna poliisi yazudde omulambo e Busaabala ne bakubira bazadde b’omwana ono ne bagenda okugukera era ne bakakasa nti omwana ono ye ye.

Kyazuuliddwa nti yabadde amaze okusobozebwako n’oluvanyuma ne bamutta.
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Katwe Benon Ayebere agamba nti, omulambo gw’omwana ono gwabadde bukunya nga guli okumpi ne kaabuyonjo nga kiteeberezebwa yabadde ayagala kugusuulamu n’alemwa.

Town Clerk wa Lubaga James Luyimbaazi agambye nti tebalina mukozi ayitibwa Luwagga era omusajja ono tebalina kaakwate naye.

Omugenzi yaziikiddwa Mpambire e Mpigi ku Lwomukaaga ku ssaawa munaana

 

Asobezza ku mwana n’amutta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke