TOP

Basibye omwana ku miguwa ne bamwokya e Mukono,

By Musasi Wa

Added 24th January 2015

OMUKAZI ow’ettima wuuno agamibwa okwekobaana ne muliraanwa we ne basiba omwana wa muganda we gwe yamuwa okumuyamba ku mirimu gy’awaka emikono ne bamwokya omuliro n’okumukuba emiggo nga bamulaga kubba ssente za muliraanwa we 4,000/-.

2015 1largeimg224 jan 2015 095014653 703x422

OMUKAZI ow’ettima wuuno agamibwa okwekobaana ne muliraanwa we ne basiba omwana wa muganda we gwe yamuwa okumuyamba ku mirimu gy’awaka emikono ne bamwokya omuliro n’okumukuba emiggo nga bamulaga kubba ssente za muliraanwa we 4,000/-.

Hasiyah Nakalema ne Rose Nakafeero ab’e Kyabakadde mu Ggombolola y’e Kyampisi mu Disitulikiti y’e Mukono kigambibwa  nti baayokezza omwana Shakirah Nabazaala, 12 emikono. Bano baakwatiddwa ne baggulwako omusango gw’okutulugunya omwana ku fayiro nnamba SD: 07/19/01/2015 ku Poliisi y’e Kyampisi.

Okubakwata kyaddiridde abatuuze okugitemyako oluvannyuma lw’okulaba omwana ono ng’azimbye emikono.

Nakalema yakkirizza okusiba omwana emiguwa n’okumukuba n’okumwokya emikono ng’agamba nti yabadde amubonereza aleme kuddamu kwemakula.

Yalaajanidde Poliisi emusonyiwe nti kuba yabadde tamanyi nti ky’akola kya butemu. 

Nakafeero eyabbiddwaako ssente yategeezezza nti, “baze yandekedde 4,200/- ne nzireka ku buliri nga wano omu ku baana bange we yaziggye n’azitwalira Nabazaala kyokka bwe baamubuuzizza ne yeegaana nze ne mbyesonyiwa.

Wabula oluvannyuma bantegeezezza nga ssente bwe bazirabye olwo maama wa Shakira n’atandika okumukuba era oluvannyuma yansabye omuguwa wabula nga simanyi nti agenda kusiba mwana ono kumwokya.”

Aduumira Poliisi y’e Kyampisi, Albert Asiimwe yategeezezza nti abakwate bano bagguddwaako emisango gy’okutulugunya omwana.

Basibye omwana ku miguwa ne bamwokya e Mukono,

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....