TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Maama yeegatta ne muganzi we ne bankuba olw’okuba nina siriimu’

‘Maama yeegatta ne muganzi we ne bankuba olw’okuba nina siriimu’

By Musasi Wa

Added 12th February 2015

POLIISI ekola ku nsonga z’amaka eri ku muyiggo gwa mukazi eyakubye muwala we n’amunuula omukono. Christine Kyomugisha, 23, yaddukidde ku poliise ye Kawaala ku Lwokutaano n’aloopa nnyina Winnie Binfosi omutuuze w’e kaazo ku Chez ne muganzi we lwa kumukuba ne bamugoba n’awaka nga bamulanga okubeera n

2015 2largeimg212 feb 2015 075410257 703x422

 POLIISI ekola ku nsonga z’amaka eri ku muyiggo gwa mukazi eyakubye muwala we n’amunuula omukono. Christine Kyomugisha, 23, yaddukidde ku poliise ye Kawaala ku Lwokutaano n’aloopa nnyina Winnie Binfosi omutuuze w’e kaazo ku Chez ne muganzi we lwa kumukuba ne bamugoba n’awaka nga bamulanga okubeera n’obulwadde bwa siriimu.

Kyomugisha bw’omutunlako kizibu okukkiriza nti aweza emyaka 23 olw’engeri gy’afaananamu.

Agamba nti ekisinga okumuyisa obubi ye nnyina amuzaalira ddala okutamiira n’amukubanga buli olukya ng’atamidde, okumwozesa engoye ze n’eza baganzi be n’okumulangira nga bwe yeereetera siriimu.

Agamba nti nnyina akeera kutambula era olumu tamulekera na kyakulya ng’ate abeera alina okumira eddagala.

Obulwadde baamuzaala nabwo era agamba nti kino yakitegeera wa myaka ena bwe yali akyabeera ne jjajja we Norah Tumwebazze e Najjembe mu Kyaggwe, eyamukuza oluvannyuma mu 2012 n’amusindika ewa nnyina amujjanjabeko.

Abudaabuda abalwadde ku ddwaaliro lya KCCA e Kawaala, Peter Kato ategeezezza nti nga bo tebalina bosobozi bwa kulabirira Kyomugisha naddala mu byokulya n’okusula wabula ng’obujjanjabiomuli n’eddagala weebuli.

Ye Sara Kaddu akola ku nsonga z’amaka ku poliisi y’e Kawaala yategeezezza nti bagenda kukwatagana n’abakola ku nsonga ze zimu e Kawempe okukwata Binfosi ne muganzi we bavunaanibwe wabula n’asaba abazirakisa okuyamba omuwala ono.

 

‘Maama yeegatta ne muganzi we ne bankuba olw’okuba nina siriimu’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...

Pana1 220x290

Engeri gye nnonda engoye ezinnyumira...

Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO. “Bye nnyambala nfuba okulaba nga bigendera ku kikula ky’omubiri gwange....

Ta 220x290

Engeri gy’olabirira enviiri ezitaweza...

ABAKYALA n’abawala bafaayo okulabirira enviiri zaabwe, kubanga zikola kinene ku ndabika y’omukyala. Ku bakyala...

Sese 220x290

Karungi nzaalira omusika tweyanjule...

ALEX Divo ne Lailah Karungi ab’e Ndejje Lubugumu bamaze emyaka ena nga baagalana naye ng’omukwano gwabwe bagamba...