TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana ow'omwaka ogumu asuuliddwa ne bbaluwa z'eddwaliro

Omwana ow'omwaka ogumu asuuliddwa ne bbaluwa z'eddwaliro

By Musasi Wa

Added 21st February 2015

ABATUUZE b’e Mulago baagudde ku mwana ku nkya nga bamuzazise ku mabbali g’ekkubo n’ebbaluwa z’eddwaaliro kwe bamujjanjabira.

2015 2largeimg221 feb 2015 113532017 703x422


Bya Deborah Nanfuka


ABATUUZE b’e Mulago baagudde ku mwana ku nkya nga bamuzazise ku mabbali g’ekkubo n’ebbaluwa z’eddwaaliro kwe bamujjanjabira.

Omwana ono eyabaddeko ebbaluwa nga ye Diana Kyabakazi nga wa mwaka gumu n’omwezi gumu, yasangiddwa mu Katale zooni e Mulago ku ssaawa 12:00 ez’oku makya ku Ssande ya wiiki ewedde. Wabbali we baabadde bamwebasizza waabaddewo ensawo y’engoye ze baabadde bazinze obulungi.

Akola ku nsonga z’abaana ku poliisi y’e Mulago Diana Kyabakazi yagambye nti omwana ono abadde alabirirwa ssentebe w’ekitundu oluvannyuma yaggyiddwayo n’atwalibwa ku poliisi y’e Mulago eyamukwasizza aba Wototo Children’s Centre okumulabirira.

Dr. Elizabeth Kiboneka akulira Mwana Mugimu yagambye gye buvuddeko nti bamalaaya be bakyasinze okusuula abaana olw’okubulwa bakitaabwe abatuufu ssaako n’omulimu gwabwe okubeera nga tegubawa budde. bw’abaana.

Omwana ow''omwaka ogumu asuuliddwa ne bbaluwa z''eddwaliro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....