TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasabye nnyina okugenda okucakala afiiridde mu nnyanja

Eyasabye nnyina okugenda okucakala afiiridde mu nnyanja

By Musasi Wa

Added 8th April 2015

OMUYIZI wa siniya 6 eyabadde agenze okuwuga ku Lido beach ne banne agudde mu nnynja n''afa

2015 4largeimg208 apr 2015 114043467 703x422

BYA EDWARD LUYIMBAAZI NE MADINAH NALWANGA

OMUYIZI wa siniya 6 eyabadde agenze okuwuga ku Lido beach ne banne agudde mu nnynja n'afa

Milly Namuyombi 20 nga abadde asomera ku Sam Yiga Memorial College e Maganjo yafiiridde mu nnyanja oluvannyuma lwa mikwano gye okumukaka okugenda mu nnyanja okuwuga wabula bwe yagezezzaako okuwuga amayengo g'ennyyanja ne gamukuba n'abbira.

Nnyina, Jackline Nansubuga omutuuze w'e Kagoma- Maganjo agamba nti Namuyombi yamusabye okugenda okucakalako ne banne ku bbiici ya Lido ku Easter Monday era naye n'amukkiriza .

Naye zibadde ziwera essaawa 9:00 e'zemisana ne wabaawo omuntu eyamukubidde essimu n'amutegeeza ng'omwana we bw'agudde mu nnyanja naye bamunoonya abuze.

Ayongerako nti yayanguye n'agenda ku poliisi y'e Ntebe ne batandika okunoonya omulambo gw’omwana ono era kyabatwalidde essaawa 2 okuguzuula.

Poliisi y'e Ntebe yakoze ekisoboka omulambo ne guzuulwa ku ssaawa 11 ez'olweggulo wabula nga gwonna guzimbye.

Namuyombi yaziikkiddwa e Jalamba mu disitulikiti y'e Masaka ku ssaawa 10 eggulo ku Lwokubiri. 

Eyasabye nnyina okugenda okukyakala afiiridde mu nnyanja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...