TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow'emyaka 10 attottodde engeri muka kitaawe gy'amuliisa kazambi

Ow'emyaka 10 attottodde engeri muka kitaawe gy'amuliisa kazambi

By Musasi Wa

Added 25th April 2015

OMWANA attottodde engeri muka kitaawe gy’abadde amutulugunyaamu n’atuuka n’okumuliisa empitambi nga kati abeera ku muliraano.

2015 4largeimg225 apr 2015 090716190 703x422

  Bya EVELYNE NALULE

OMWANA attottodde engeri muka kitaawe gy’abadde amutulugunyaamu n’atuuka n’okumuliisa empitambi nga kati abeera ku muliraano.

Tania Namubiru, 10, agamba maama we Aidha Nabulya ne kitaawe, Henry Luwazo. Nnyina yanoba awaka n’antwala ng’afumbiddwa e Salaama ku Mayanja ewa Johnson Mzei eyamulagira okuzinzaayo ewa kitange. 
 
Maama yasooka n’antwala ewa mukwano gwe e Ggangu B ku lw’e Busaabala gye nnavanga okugenda ku ssomero. Mu kaseera katono taata yankimayo ng’ali ne mukyala we, Jane Ahimbisibwe ne nzirayo awaka. Mu kusooka muka kitange yampisa bulungi wabula yagenda akyuka.
 
Yatandika okuntumanga ku luzzi ekiro ng’amazzi ngaleeta n’agayiwa mu mwala,  oba mu buliri bwange,  oba okuyiwamu omusulo.  Nze mbadde nkola buli mulimu awaka. 
 
Bwe nabuuliranga taata n’amukuba olwo ng’ enkeera naye ankuba bubi nnyo. Yatuuka n’okung’amba nti taata ankozesa nga  bw’anfumita omulawo mu mbugo.  
 
Olumu yakwata engoye zange n’azisalaasala ng’era mbadde  nnyambala njulifu.
 
Bwe yatandika okundiisanga empitambi mu buugi ku kibooko, ne mbuulira baliraanwa. Bano bajja ne bamukwata ne taata ne babasalako enviiri ne babatwala ku poliisi y’omu Kikajjo kyokka n’ebata.
 
Kati nsula ku muliraano nga nkola emirimu nsobole okufuna kye ndya.
 
Kitaawe Luwazo agamba nti mbuuliridde omukazi alekeraawo okutulugunya omwana naye tawulira. Sirina kyakumukolera kuba mmulinamu abaana babiri abato okuli n’ayonka.
 
Ahimbisibwe yategezeeza nti Namubiru okuva bwe yagenda ewa nnyina yakomawo akyuse ng’ateeka omunnyo mu ddagala ly’abaana bange. Bwenfumba enva ayongeramu omunnyo.
 
Ayiwa amazzi mu buliri bwange nga n’olumu yakwata omwana wange n’amuggunda wansi. Bwe nnamubuuza lwaki ampisa bwatyo n’agamba nti maama we n’omukyala gye yabeeranga be baamulagira y’ensonga lwaki nange mutulugunya. 
 
Joel Mubangira, Ssentebe wa Kisangani Zooni Makindye Ssabagabo ku lw’e Busaabala mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti abantu bano yabaggulako omusango ku fayiro  SD: 08/30/03/2015 ku poliisi y’omu Kikajjo.  
 
Luwazo yakola endagaano ng’akkiriza okuweerera Namubiru ate maama wa Namubiru n’akkiriza okubeera n’omwana we. Ekyewuunyisa nnyina yamukomyawo n’ategeeza nti tasobola kumulabirira.  
 
Olw’okutya okutulugunyizibwa, Namubiru yagaana okubeera ne kitaawe kati asula ku muliraano. 
 

Ow''emyaka 10 attottodde engeri muka kitaawe gy''amulisa kazambi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...