TOP

Omutemu ayokezza essomero omwana n’afiiramu

By Musasi Wa

Added 22nd May 2015

OMUZIGU atannategeerekeka ayokezza essomero ne mufiiramu omwana omu. Byabadde ku ssomero lya Shep kindergarten e Bunnamwaya okumpi n’e Kampala.

2015 5largeimg222 may 2015 103244530 703x422

Bya Shamim Nabunnya
OMUZIGU atannategeerekeka ayokezza essomero ne mufiiramu omwana omu. Byabadde ku ssomero lya Shep kindergarten e Bunnamwaya okumpi n’e Kampala.

Omwana eyafudde ye Tronita Nampijja ow’emyaka etaano ng’abadde asoma mu ‘baby class’. Nnannyini ssomero lino, Aisha Musoke yannyonnyodde nti asula n’abayizi be mu kisenge ekimu
ku ssomero era zaabadde ziwera ssaawa nga 6.00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokuna, n’awulira omuliro nga kutumbuka omulundi gumu.

Yayanguye okuzuukuka n’atandika okukung’aanya abaana okubafulumya kyokka yabadde akkirira nabo amadaala, omwana eyafudde n’ava ku banne n’addayo waggulu mu kizimbe.’

Aisha Musoke ng’azirise.

Nnayanguye okumugoberera kyokka saasobodde kumutaasa kubanga nnasanze omuliro gumaze okumwokya ng’afudde,’’Musoke bwe yannyonnyodde abazadde.

Wabula poliisi bwe yazze, yazudde eddaala emabega w’ekizimbe omuzigu lye yakozesezza okulinnya waggulu n’amansira petulooli n’akoleeza omuliro ogwasse omwana n’okusaanyawo ebintu byonna ebyabadde mu kisenge ekyo.

Kitaawe w’omwana , Henry Ssekyanzi yazze kiwalazzima era yatemye omulanga ng’atuuse ku mwana we eyabadde afuuse ebisiriinza, n’ategeeza nti omwana we yaleeteddwa ku ssomero ku Lwakusatu okutandika okusoma ng’abadde wa kisulo.

Nnyina w’omwana ono , Rosemary Nakatwere yagenda Dubai gy’akolera nga yali yamulekera muganda we okumumulabirira eyamufunidde essomero lino mwe yafiiridde.


Akulira poliisi ya Bunnamwaya Ngobe, Alexander Nuwagaba yagambye nti ebintu ng’eddaala omuntu
kwe yalinnyidde byonna baabirabye era batandikiddewo okunoonyereza okuzuula eyakoze ekikolwa kino.

Muky. Musoke alumiriza nti buno bwabadde bulumbaganyi butegeke era yakissizza ku mpalana z’abantu abaludde nga bamulwanyisa okulemesa essomero lino.

Omutemu ayokezza essomero omwana n’afiiramu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dham 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...

Nucafe 220x290

Abalimi b’emmwaanyi babakuutidde...

KAWEEFUBE w’okutumbula okulima emmwaanyi mu ggwanga aba aBi bakwatagangye n’ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi...