TOP

Abaana 10 baweereddwa obutwa e Kyengera

By Musasi Wa

Added 11th June 2015

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kyengera mu ggombolola y’e Nsangi abaana 10 bwe batwaliddwa mu ddwaaliro nga bateeberezebwa okunywa obutwa kyokka omu n’akutukira mu kkubo.

2015 6largeimg211 jun 2015 104145927 703x422

Bya Vicent Kato

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kyengera mu ggombolola y’e Nsangi abaana 10 bwe batwaliddwa mu ddwaaliro nga bateeberezebwa okunywa obutwa kyokka omu n’akutukira mu kkubo.

Resty Nassazi ng’abadde asoma ku St. Aloysias P/S e Kyengera yafiiridde mu kkubo nga bamuddusa mu ddwaaliro olw’ebiteeberezebwa okuba obutwa kyokka banne okuli: Presca Naibumbwe (7) P.2, Shafiir Kamba(4), nassale, Nusifar Kamba(8) P.3, Nasira Muhammad, Angel Nalugooti(8), Emmanuel Mukwaya (5) n’abalala nga batuuze mu Masanda zooni bbo ne batwalibwa mu malwaliro ag’enjawulo okufuna obujjanjabi.

Janat Nakamatte, nga ye maama omuto ow’abamu ku baana bano yategeezezza nti ku Mmande olweggulo, omukyala amanyiddwa nga Hajati Debo mukyala wa Haruna Debo Halili ow’omuluka gwa Rhino Camp mu Arua yayita abaana bano okulya emmere gye yali aggye ku mukolo nga kigambibwa ye yavaako obuzibu kuba olwamaze okugirya ne basesema.

Atwala poliisi y’e Kyengera, ASP Ahinbi Mackline yagambye nti baakutte Hajjati Debo abuuzibwe.

Abaana 10 baweereddwa obutwa e Kyengera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yiga 220x290

Ebiwalirizza Paasita Yiga okuddukira...

PAASITA Yiga Mbizzaayo nga tannasitula kugenda South Afrika, yasoose kutunda makaage agali e Mmengo era gwe yagaguzizza...

Waaka 220x290

Embwa 10 ziridde omwana emisana...

EKIKANGABWA kibuutikidde abatuuze b’e Kyengera mu zooni ya Mugongo ‘B’ ekisangibwa mu Wakiso, embwa bwe zikkakkanye...

Nara 220x290

Poliisi etadde ebiragiro ku bifo...

POLIISI eyisizza ebiragiro ku bizimbe n’ebifo awakung’aanira abantu abangi okwetangira abatujju abaakubye Kenya....

Pati 220x290

Abaasimattuse abatujju e Kenya...

EGGULO ku Lwokusatu mu biseera eby’okumakya, pulezidenti wa Kenya yayogedde eri eggwanga n’ayozaayoza ebitongole...

Vutu 220x290

Kamera gwe yakwata ng'abba essimu...

OMUVUBUKA eyanyakula essimu ku musaabaze mu takisi n'adduka nayo asimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road n'avunaanibwa...