TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama ow'ettima anobye n'aleka ng'asibidde abaana mu nnyumba!

Maama ow'ettima anobye n'aleka ng'asibidde abaana mu nnyumba!

By Musasi Wa

Added 13th June 2015

MAAMA ow’ettima anobye ku bba n’aleka ng’asibidde abaana be abato basatu mu nnyumba. Phiona Atusasibwe abadde abeera ne bba e Kansanga mu Heritage zooni ye yanobye n’aleka abaana abato ng’abasibidde mu nju n’adduka n’ebintu by’omu nnyumba.

2015 6largeimg213 jun 2015 110959137 703x422

Bya JUDITH NALUGWA

MAAMA ow’ettima anobye ku bba n’aleka ng’asibidde abaana be abato basatu mu nnyumba. Phiona Atusasibwe abadde abeera ne bba e Kansanga mu Heritage zooni ye yanobye n’aleka abaana abato ng’abasibidde mu nju n’adduka n’ebintu by’omu nnyumba.

 Taata w’abaana bano, Godfrey Muwanika omuvuzi wa bodaboda ku siteegi y’oku Heritage yategeezezza nti,  “nnazzeeyo awaka ku ssaawa bbiri ez’ekiro ne nsanga ng’abaana bakaaba ne nkonkona naye ng’abaana be bali ku luggi. Ekirungi nnabadde n’ekisumuluzo ekyange kwe kuggulawo kyokka nga maama waabwe taliimu nga n’ebintu by’omu nnyumba byonna yabisibye n’abitwala.” 

 Muwanika yategeezezza nti abadde amaze emyaka etaano ne mukazi we nti kyokka tamanyi waakumuggya kuba tamanyi waabwe ate nga n’essimu yaziggyeko. Yagguddewo omusa-

ngo gw’okusuula abaana ku poliisi e Kabalagala oguli ku SD:29/07/06/2015.

Akola ku nsonga z’amaka ku poliisi e Kabalagala, Edith Komuswa yategeezezza nti batandise okunoonya Atusasibwe avunaanibwe kyokka n’awa Muwanika amagezi okufuna anaamukuumira abaana.

Bamusuulidde abaana n’alaajana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?