TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyizi yeemuludde ku basajja abaabadde bamuwambye

Omuyizi yeemuludde ku basajja abaabadde bamuwambye

By Musasi Wa

Added 22nd June 2015

JOAN Nakiwunga,12, asoma mu S1 mu Ample High School E Mutundwe mu Kampala yeemuludde ku basajja abaabadde bamuwambye nga boolekedde olw’e Masaka.

2015 6largeimg222 jun 2015 110737707 703x422

Bya Vicent Kato

JOAN Nakiwunga,12, asoma mu S1 mu Ample High School E Mutundwe mu Kampala yeemuludde ku basajja abaabadde bamuwambye nga boolekedde olw’e Masaka.

Nakiwunga agamba nti yakedde kuva mu maka ga mukulu we, Base Nakasumba e Kinaawa mu ggombolola y’e Nsangi ng’agenda ku ssomero ne wafubutukayo emmotoka omwabadde abasajja abaayimiridde okubaako bye bamubuuza.

Agamba nti bwe yasembedde kwe kumuvumbagira ne bamuyingiza mu mmotoka ne basimbula.
Agamba nti baayimiriddeko e Nabbingo okufuna ekyokulya nga wano Nakiwanga we yeemululidde n’adduka n’asibira ku poliisi.

Aduumira poliisi y’e Nsangi, James Salaamu ng’akwasa Nakasumba muto we yakubirizza abazadde okulabulanga abaana beekengere ababaleetako olukwano n’okubasuubiza okubayamba oba okubatwalako

Omuyizi yeemuludde ku basajja abaabadde bamuwambye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...