TOP

Abawambye omwana basabye obukadde 100

By Musasi Wa

Added 22nd June 2015

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura ayungudde bambega abakugu mu kunoonyereza ku misango egy’amaanyi ne bagenda e Mityana okunoonyereza ku bazigu abaawambye omwana ne basaba abazadde obukadde 100 okumukomyawo.

2015 6largeimg222 jun 2015 173634210 703x422

Bya LUKE KAGIRI

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura ayungudde bambega abakugu mu kunoonyereza ku misango egy’amaanyi ne bagenda e Mityana okunoonyereza ku bazigu abaawambye omwana ne basaba abazadde obukadde 100 okumukomyawo.

Omwana eyabbiddwa Clever Golola ow’emyaka esatu wa Samuel Kasolo omukozi mu kitongole ky’amasannyalaze ne mukyala we Racheal Kasegu nga bombi batuuze b’e Mizigo B LC 1 mu kibuga Mityana.

Omwana ono okubula, nnyina yabadde waka n’abakozi ku ffaamu y’abazadde era kigambibwa nti eyamubbye yamuliimisizza agenze mu kaabuyonjo n’amuyisa emmanju n’abulawo naye.

Abazadde bamaze ennaku eziwera nga banoonya omwana okutuusa abeeyise abazigu bwe baatandise okukuba amasimu nga basaba abazadde obukadde 100 bamubaddize.

Abatuuze be baasoose okusamba ensiko wiiki ewedde nga bwe bakuba “Ggwanga Mujje” kyokka amaanyi n’essuubi ne bibaggwaamu.

Poliisi nga yeegasse ku batuuze okuyigga

Ebimu ku bizibiti bye baabadde bazudde kwe kuli akagoye k’omwana ke yabadde ayambadde kw’olwo n’engatto y’omusajja agambibwa nti amanyi ku by’okuwamba omwana; era bino baabikwasizza poliisi.

Kasolo taata w’omwana yagambye nti abazigu bakyusakyusa amasimu ge bakozesa ate agamu tegalaga nnamba. Nti baasoose kubasaba obukadde 100 kyokka bwe baalaajanye nti tebazirina, kwe kubalagira basooke basindike obukadde 20 ng’omusingo, omwana aleme kutuusibwako bulabe.

Yagambye nti mu kiseera kino basobeddwa kubanga buli kafo we babadde bateebereza okusanga omwana Clever bakituuseemu naye teri kye bazudde!

BAKUNYIZZA OMUSAJJA MUGANGA EYAKWATIDDWA
Ensonda ku poliisi e Mityana zaategeezezza nti bambega baakunyizza omusajja eyategeerekese nga Muganga, abatuuze gwe balumiriza nti ye nnannyini ngatto eyasangiddwa mu kisiko omwana gy’agambibwa nti we baamuyisizza nga bamubuzaawo.

Wabula Muganga bakira akalambira nti talina ky’amanyi ku mwana Clever eyabuze. Baamubuuzizza oba alina akakwate n’omukazi Veronica Tebitendwa eyasooka okufumba mu maka ga Kasolo nga tannawasa Rebecca Kasegu.

Tebitendwa naye yakwatiddwa wiiki ewedde nga kiteeberezebwa nti ayinza okuba nga ye yabuzizzaawo omwana okulumya muggyawe, kyokka poliisi n’emuyimbula ku kakalu kaayo nga bw’ekola okunoonyereza.

Tebitendwa yayawukana ne Kasolo kyokka abaana ne basigala ewa kitaabwe era Kasegu y’abadde abalabirira; kyokka ne Tebitendwa abadde atera okubalambulako.

Maama w’omwana nga bimusobedde.

Muganga yagambye nti talina ky’amanyi ku Tebitendwa kyokka bambega bakyagenda mu maaso n’okumubuuza akana n’akatono n’engeri engatto ye gye yatuuka mu kisiko kubanga yabadde teyeegaana ngatto!

Omuduumizi wa poliisi atwala ettundutundu ly’e Mityana n’e Mubende (RPC) Francis Dratti yagambye nti okunoonyereza ku musango guno kugenda mu maaso.

Mu bimu ku poliisi by’enoonyerezaako be bannannyini masimu agakozesebwa mu kukubira abazadde nga babasaba ssente okuyimbula omwana waabwe.

Abamu ku baana abazze bawambibwa okuli Kham Kakama e Bugoloobi mu Kampala ne Joan Namazzi ow’e Nabbingo ku lw’e Masaka, abaabawamba baasaba abazadde ssente; wabula ate ne babatta!

Kayihura asindiseeyo bambega babayigge
EGGULO Gen. Kayihura yasindise ekibinja kya bambega okuva e Kampala okuyambako abaserikale b’e Mityana mu kunoonya abazigu ababbye omwana.

Baakulembeddwaamu Allan Twishima, akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango eyabatutte mu kifo omwana we yabulira n’abatuusa ne mu kisiko we baasanze akagoye k’omwana n’engatto y’omuntu ateeberezebwa nti amanyi ku by’okumuwamba.

Beetoolodde ekyalo ne boogerako n’abamu ku batuuze, abazadde b’omwana n’abantu abaali ku ffaamu mu kiseera omwana we yabulidde era bye baakung’aanyizza ne babiyingiza mu fayiro.

Abawambye omwana basabye obukadde 100

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam