Bya JOSEPH MUTEBI NE LUKE KAGIRI
EKITONGOLE kya Flying Squad kikutte ne kiggalira abasajja babiri abagambibwa okubeera mu lukwe lw’okuwamba omwana ate bannaabwe ne batandika okusaba abazadde obukadde 100 balyoke babamuwe.
Abaakwatiddwa kuliko Paul Muganga 22 ne Tuzeyimana 21 nga bonna batuuze b’e Katakala mu
Busimbi mu disitulikiti y’e Mityana.
Kigambibwa nti balina akakwate ku kubuzibwawo kw’omwana Clever Golola ow’emyaka esatu mutabani wa Samuel Kasolo, omukozi mu kitongole ky’amasannyalaze ne mukyala we Racheal Kasegu.
Aduumira ekitongole kya Flying Squad mu kiseera kino mu ggwanga, SP/ Herbert Muhangi yategeezezza nti Gen. Kale Kayihura yasindise abaserikale e Mityana ne batwala embwa ne
zigwa ku lugabire ya Muganga nga kye kyamukwasizza.
Laba ne bino;
Abawambye omwana basabye obukadde 100
Bambega ba poliisi baagudde ku kawale k’omwana ke yali ayambaddeokumpi ne kaabuyonjo y’abazadde be ate mu maasoko katono ne bagwa ku kasaati omwana ke yalimu.
Wabula Muganga agamba nti yeewuunyizza Kasegu okumuwaayiriza ku ky’okubba omwana
ate ne batandika okubasaba ssente .
Omwana ono okubula, Kasegu yabadde waka n’abakozi b’oku ffaamu y’abazadde era kigambibwa nti eyamubbye yamuliimisizza agenze mu kaabuyonjo n’amuyisa emmanju n’abulawo naye.
Abazadde bamaze ennaku eziwera nga banoonya omwana okutuusa abeeyise abazigu bwe
baatandise okukuba amasimu nga basaba abazadde obukadde 100 bamubaddize.
Poliisi etutte 2 ku by’omwana eyawambiddwa