BYA JOSEPH MUTEBI
OMUYIMBI Bebe Cool adduukiridde ebujje eryatulugunyiziddwa bakadde baalyo nga bamuliranga okulya nnusu 100 ezaali zifisse ku kidomola kyamazzi kye baalituma.
Sarah Nakayuki 8 muwala wa Ibrahim Ssenyonga ow’e Katooke Nabweru yeyatulugunyizibwa kitaawe ne mukazi we Viola Namata.`
Namata yakwata Nakayuki bweyamala okumukubisa waya namutonyezza obuveera omubiri gwonna era nalinda nga kitaawe akomyewo naye eyatandikira mukazi we weyali akomye.
Nakayuki ng'aleenya n'ebiwundu
Enkeera baliraanwa baalaba Nakayuki nga yeebase ku lubalaza avaamu amasira kwe kuyita aboobuyinza abaakwata abazadde olwo omwana ne bamutwala mu kalwaliro ku kyalo ng’awulubadde omubiri gwonna.
Eno Bebe Cool gye yamusanze ng'ateereddwako amacupa, namusasulira ebisale olwo namwongerayo e Wandegeya mu ddwaliro eddeneko bamukebere mu ka ttivi bamuwe n’obujjanjabi obusingawo.
Bebe Cool yakubirizza Abasiraamu bonna mu kiseera kino okuvaayo mu mbeera bwe ziti baziduukirire nti lwebanafuna mu kisiibo kyabwe.
Bebe Cool adduukiridde omwana bazadde be gwe baatonnyeza obuveera