TOP

Bamukutte n’omusiguze nga babatiza omwana

By Musasi Wa

Added 30th June 2015

POLIISI ekukunudde omukazi mu klezia e Gayaza n’omusajja omulala gwe yagabidde omwana ngabagenze okumubatiza kyokka nga kitaawe abadde amanyiddwa bulijjo tategedde

2015 6largeimg230 jun 2015 105937310 703x422

Bya Sarah Zawedde ne Samuel Tebuseeke

POLIISI ekukunudde omukazi mu klezia e Gayaza n’omusajja omulala gwe yagabidde omwana nga bagenze okumubatiza kyokka nga kitaawe abadde amanyiddwa bulijjo tategedde.

Olivia Nambooze, omusomesa mu Rock Right Infant School e Mannyangwa ne ‘masita’ Micheal
Kinene asomesa ku Spire P/S baakuunuddwa mu klezia y’e Gayaza ku nkya ya Ssnde nga bagenze
okubatiza omwana bulijjo amanyiddwa ng’owa Victor Nsubuga.

Nambooze yabadde anekedde nga yeekubye ddikini okwabadde pawuda n’obumyamyansa mu
nviiri era nga n’amaaso gonna agasiize langi eya kyenvu n’emmyuukirivu.

Okukwattibwa kyaddiridde abantu okutemya ku Nsubuga nga bamutegeeza nga ‘Masita’ Kinene bw’ategekedde ‘omwana we’ akabaga k’okubatiza.

Nsubuga omwana abadde yamutuuma Cabrine Nankya ate Kinene nga yamutuuma Brenda Nakitende. Nsubuga yatemezza ku poliisi gye yaloopye n’omusango ku Nambooze nti yanoba n’ebibye bya bya 2,250,000/-.

Yatwaliddwa ku poliisi y’e Kasangati gye yaggaliddwa ku musango gw’obubbi oguli ku fayiro
SD:21/28/06/15, okusinziira ku Henry Buyondo, atwala poliisi eno.

Bamukutte n’omusiguze nga babatiza omwana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda