TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusomesa omulala amenye abaana emikono ng''ababonereza

Omusomesa omulala amenye abaana emikono ng''ababonereza

By Musasi Wa

Added 10th July 2015

POLIISI e Kawempe ekutte omukulu w''essomero lwa kutulugunya bayizi, ng''omu yamukubye namuggyamu amannyo namumenya n''omukono ng''omulala yalagidde omusomesa okumwokya omumwa lwa kubba mugaati gwa muyizi mune.

2015 7largeimg210 jul 2015 164924257 703x422

Bya Shamirah Nabiddo

POLIISI e Kawempe ekutte omukulu w'essomero lwa kutulugunya bayizi, ng'omu yamukubye namuggyamu amannyo namumenya n'omukono ng'omulala yalagidde omusomesa okumwokya omumwa lwa kubba mugaati gwa muyizi mune.

Omukwate ye Maurice Tukundane nga yakulira esomero lya Wamala Parents erisangibwa mu munisipali y'e Kawempe.

Ono okukwatibwa kyadiridde abaana babiri nga baluganda okutulugunyizibwa ku ssomero okuli Jovan David Kayiwa 11 ng’asoma p.5 ne mune Owen Mathew Banadawa 7 ng’asoma P.1.

Omukulu w'essomero Maurice Tukundane (owokubiri ku kkono) ng'atwalibwa ku poliisi. Mu katono ye mwana Owen Mathew Banadawa 7 gwagambibwa okwokya ku mimwa,

Ebifaananyi byonna bya Shamira Nabiddo.

Okusinziira ku maama w’abaana bano Josephine Namatovu agamba nti alina abaana basatu mu ssomero lino mu kisulo nga yabatwalayo mu lusoma olusoooka luno baalumalako bulungi naye ng’omu agamba nti ye omukulu we ssomero amukuba nnyo.

Nze okutegeera yali mukulu wabwe Rodney Mukiibi eyatoloka ku somero ne muyiizi munne nga nabekangira waka n’angamba nti banne gyebali naye balwadde olwokukubwa ennyo.

Okusinzira ku atwala ensonga za baana ku poliisi e Kawempe Florence Agilong akakasizza okukwatibwa kw’omukyala ono nategeezza nga bwagenda okutwalibwa mu kooti avunanibwe emisango egyejawulo ng’okunonyerzza kuwedde. Asibiddwa ku fayilo nnamba SD 50/02/07/2015

Ebirala

Omusomesa aleppuka na gwa ku kuba muyizi kibooko 84

 

Omusomesa omulala akubye amenye abaana emikono ng''ababonereza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.