TOP

Asuddewo omwana n’agenda okwetunda

By Musasi Wa

Added 8th August 2015

POLIISI y’e Kawaala eggalidde omuwala eyasudde omwana ku mizigo oluvannyuma n’adduka.

2015 8largeimg208 aug 2015 110027933 703x422

Bya PETER SSAAVA

POLIISI y’e Kawaala eggalidde omuwala eyasudde omwana ku mizigo oluvannyuma n’adduka.

Sharon Najjemba ow’e Kawaala Zooni 2 yakwatiddwa poliisi y’e Kawaala oluvannyuma lwa baliraanwa be okugenda ku poliisi n’omwana ono gwe baagambye nti yamusudde obudde bukya.

Najjemba okukwatibwa kyaddiridde omu ku batuuze b’e Kawaala okumusanga mu kifo ekimu mu Kampala omwetundira bamalaaya gy’abadde yeekukumye nga kigambibwa nti okumusuulawo abadde agenze kwetundira eyo.

Najjemba yategeezezza poliisi nti omusajja abadde takyalabirira mwana nga yabasulawo n’agenda mu kyalo e Bugerere nga n’oluusi babadde bakuba ku ssimu ze nga tazikwata kwe kusalawo yeetunde asobole okufuna ky’alya n’omwana we.

Omutuuze, Frank Kajubi apangisa ku nnyumba Najjemba kw’asula yategeezezza nti wiiki bbiri emabega babadde n’obutakkaanya nga n’oluusi abawulira bayomba n’okulwanira mu nju wabula nga tamanyi kibatabula.

Agnes Kiiza akola ku nsonga z’abaana n’amaka ku poliisi eno yategeezezza nti Najjemba agenda kutwalibwa mu kkooti avunaanibwe omusango gw’okutulugunya omwana wabula n’asaba abasajja okuyambanga ku bakazi baabwe nga bali mu buzibu kuba oluusi obuzibu bwe batuukako buva ku basajja butabalabirira.

Asuddewo omwana n’agenda okwetunda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...