TOP
  • Home
  • Eby’abaana
  • Omuwala attottola mukama we bwe yamutwalanga ‘awutu’ ne bamukuba kalifoomu ne bamukozesa

Omuwala attottola mukama we bwe yamutwalanga ‘awutu’ ne bamukuba kalifoomu ne bamukozesa

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd April 2016

NEEVUMA obwavu obwannemesa okusoma ne nsalawo okukola obwa yaaya obundeetedde ebizibu bye ngenda okufa nga nneevuma. Bino bye bimu ku bigambo by’omuwala Joan (erinnya eddala lisirikiddwa), by’attottola.

Ddayo1 703x422

NEEVUMA obwavu obwannemesa okusoma ne nsalawo okukola obwa yaaya obundeetedde ebizibu bye ng'enda okufa nga nneevuma. Bino bye bimu ku bigambo by’omuwala Joan (erinnya eddala lisirikiddwa), by’attottola.

Nnina emyaka 15, mbeera Najjanankumbi. Ssente bwe zaabula maama, ne nva mu ssomero ssenga kwe kunfunira aw’okukola obwa yaaya e Kireka.

Mbadde nkolera omukyala ayitibwa Flavia Abias. Mbaddeyo akabanga katono ne nnemererwa olw’embeera gy’abadde ampisaamu.

Omulimu gwange nnali ngwagala kuba awaka tewaalinga mirimu mingi ate nga ne bboosi wange annyambako ku mirimu.

Wabula nga mmaze okumanyiira, yatandika okuntwalanga ‘awutu’ okunsanyusaamu olw’okumukoleranga obulungi.

Olunaku olwasookera ddala okuntwala awutu, twali tutudde ne wajja abavubuka basatu ne bayita mukama wange ne bagenda.

Oluvannyuma bonna baakomawo ne batandika okunsaba omukwano. Nagezaako okugaana wabula mukama wange n’ampita nti “Joan kkiriza bye bakugamba nze mbatumye’’.

Nagaana wabula mukama wange n’angulira sooda n’amuteekamu kalifoomu kye saamanya n’ampa ne nnywa abavubuka bano bonna ne bankozesa nga simanyi.

Ngenda okudda engulu ng’obudde bukedde ate nga ndi waka era nga mpulira obulumi mu bitundu by’ekyama n’obukoowu.

Bwe nnabuuza mukama wange ekyali kintuuseeko, yanziramu nti,” tofaayo abakazi bwe batyo kirabika ogenda mu nsonga.’’ Yampa eddagala erikkakkanya obulumi.

Wabula kino yakikola okumala ebbanga ng’antwala awutu naye nga buli lwe tugenda nziramu okutegeera nga ndi waka ku makya ate nga nnumizibwa mu bitundu eby’ekyama.

Kyansukkako ne mmutegeeza bwe nnali mbikooye era ne nsalawo okudda ewa maama mu kyalo e Mbarara.

Bwe natuuka mu kyalo, maama olwandabako yambuuza nti mwana wange oli lubuto? Namuddamu nti nedda wabula yantwala mu ddwaaliro okunkebera era ne bakamutema nti nnina olubuto lwa myezi 4.

Maama yangoba nzireyo ewa nnannyini lubuto era ne munnyonnyola bwe byali ate nga ne nnannyini lubuto simumanyi.

Yakubira ssenga eyantwala okukola n’abimuyitiramu, ssenga kwe kunzizaayo ewa mukama wange okumubuuza wabula n’abyegaana Ssenga yaloopa omusango ku poliisi ne bayita mukama wange ne babimubuuza era omusango n’akkiriza nti agumanyiiko era ebikolwa bino yabikolanga.

Wabula buli lwe tugenda ku poliisi ng’abaako ky’awa poliisi nga babuzaabuza omusango n’okutuusa kati tebatutwalanga mu kkooti.

Nsaba aboobuyinza munnyambe okutwala omukyala ono mu mateeka. Olubuto kati luwezezza emyezi mukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...