BBEBI owa wiiki emu bamusudde ku kasasiro mu Kikajjo Zooni.
Akulira ekitongole kya God’s Mercy Children’s Home, Hirary Basereka yategeezezza nti abaakakiiko k’ekyalo mu zooni ya Kikajjo e Namasuba be baalonda omwana ono ku kasasiro ne bamukwasa poliisi y’omu Kikajjo abaamukwasa abapoliisi y’e Katwe.
Basereka yagambye nti omwana yamutuumye Tendo Ephraim.
Yavumiridde abazadde abasuula abaana n’asaba aboobuyinza okunoonyerezaako.