Bya Stella Naigino
Abazadde bangi banguyirwa okukuba abaana mu kubabonereza nga bakoze ensobi nga tebasoose kwebuuza lwaki bazikoze ekikosa obulamu bw’abaana n’oluusi okwongera okumwonoona.
Olumu osanga abaana bagamba nti maama ajja kunkuba kiggwe era ng’omwana oyo abeera takyatya bazadde be kuba akimanyi nti abazadde tebamuwa mukisa kunnyonnyola lwaki yeeyisizza mu ngeri etesaana.
Abakugu bagamba nti, omuzadde yenna nga tannakuba mwana afube okumanya lwaki omwana oyo abeera akoze ekintu ekitasaana:
- Yogera n’omwana wo:
Ronald Balisanyuka, mukulu wa ssomero agamba nti Omwana bw’omubuuza ayinza okukunnyonnyola era n’otegeera wa obuzibu we buvudde era n’omunnyonnyola mu ngeri ey’okumutereezan’ataddamu kukola nsobi eyo.
Kino kimusanyusa era amanya nti omufako era oyagala akole by’asaanide okukola era naye yeewala okukola ensobi.

- Omwana wo mufule mukwano gwo:
Abazadde abasinga bakambuwalira abaana ne babatya nga buli lwe babalaba bakolerawo ebibalagiddwa. Kino kimuleetera obutategeera by’omugamba era okukkakkana akola bikyamu byereere.
Okuggyawo kino, beera mukwano gwa mwana wo era nga wano ajja kukubuulira buli kimu ekimuli ku mutima, era omanye ebimuluma n’ebimusanyusa. Bw’akola ensobi obeera omanyi eky’okukola okuyamba omwana.

- Kuuma obusungu:
Lynnette Apondi, mukugu mu by’abaana agamba nti abazadde abasinga bwe banyiiga, tebakuuma busungu nga baboggola ekikyamu. Apondi agamba nti, omuzadde asaanye akuume obusungu era akwate omwana we mpola wadde ng’omwana abeera akoze ensobi. “Okumuboggolera kimuggya ku mulamwa ate kimulaga ekifaananyi ekibi era olumu osanga naye aboggolera abantu,” Apondi bw’annyonnyola.
- Omuggo gukozese nga kisaanidde:
Apondi agamba nti, olumu abaana bakoppa enneeyisa yaabwe ku bazadde era nga bagezaako okukola ebyo abazadde baabwe bye bakola so nga tebiba birungi olwo ne bakola ensobi.
Abo be baana b’osanga nga balwana ne bannaabwe buli kaseera oba nga bawemula ku masomero era olumu ne babagoba lwa nneeyisa yaabwe. Kyokka omuzadde bw’alaba ng’omwana bamugobye, ye akuba mukube n’atamanya nti omwana by’akola abikoppa ku ye,” Apondi annyonnyola.
Agamba nti, abazadde bayigirize abaana ebintu ebituufu eby’okukola era bwe bakola ebintu ebirungi babasiime.