TOP

Abaana bazannye okufa kwa Yesu ne bakaabya abazadde

By Musasi wa Bukedde

Added 19th April 2019

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja

Komerera4webuse 703x422

Abaana nga balaga ekitundu Yesu we yaggyirwa ku musaalaba

Bya Paul Kakande

Abaana ku kkanisa ya World Answer Church ekulemberwa Nabbi Jeremiah Sebakijje e Masajja - Kibira mu munisipaali y’e Makindye booleseza ebitone eri abalokole abasabira mu kkanisa eno nga bayita mu muzannyo ogwoleka ebizibu Yesu bye yayitamu okutuuka okutufiirira ku musaalaba.

Olwaleero ekkanisa eno ebadde ejjukira olunaku lwa Yesu lwe yakomererwa ku musaalaba e Ggologoosa n’alokola abo bonna abamukkiririzaamu era ne basonyiyibwa ebibi byabwe.

 baana nga bakunguzza esu okumutwala e gologoosa Abaana nga bakunguzza Yesu okumutwala e Ggologoosa

 

Abaana bano ababadde wakati w’emyaka 5 ne 11 baayolesezza nga bayita mu muzannyo era olw’okukozesa ebitone ne baggyayo ekifaananyi ekituufu ate nga bato, kivuddeko n’abantu abakulu abamu okwoza ku mmunye.

Omusumba Sebakijje ategeezezza abalokole nti, bwekiba ng’omuntu osobola okwennyamira ng’olaba abaana bazannya omuzannyo naye ate maama wa Yesu eyaliwo ng’alaba mutabani we atulugunyizibwa okutuusa bwe yattibwa.

 baana mu kitundu ekyokuttibwa kwa esu Abaana mu kitundu eky'okuttibwa kwa Yesu

 

Ono era ategeezezza abantu obuteemulugunyanga, nga bali mu bizibu babeere nga Yesu eyeekwata ku kitaawe okusobola okuwangula okufa.

Ono era agambye nti, abalokole baleme kweyitanga bweyisi balokole naye bakole ebyo ebibafuula abalokole mu bikolwa nga balabira ku Yesu eyeerekereza obumubwe n’attibwa olw’okwagala omwana w’omuntu, mu mbeera eyo n’abalokole basaanidde okubangako bye beerekereza olw’obulungi bwa bannaabwe ne Katonda waabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...