TOP

Omukwano gw'omwana ne maama gutandikira mu kuzaala

By Vivien Nakitende

Added 22nd August 2019

Omwana mulage omukwano okuva nga waakamuzaala ng'omuyonsa n'okumuwembejja akule nga yeeyagala

Born12webuse 703x422

Hajarah Mbekkaanya ow'e Kimbugu - Mpigi ng'ali mu ddwaaliro e Mpigi gye yazaalidde omwana we asooka.

Bya Vivien Nakitende

Enkolagana ya maama n'omwana nkulu era etandikira mu kaseera omwana w’azaalibwa, kuba oluzaalibwa agalamizibwa ku lubuto oba ku kifuba kya nnyina.

Hadijah Nandyose, eyeebuuzibwako ku nsonga z'abaana agamba nti, omwana nga yaakazaalibwa abeera mu mbeera ya kuyiga na kuvumbula kubanga buli kintu kiba kipya gy'ali. Akabugumu ka maama, okumusiisiitira oba okumuwembejja ng'amukutte bikulu mu kutandika n'okunyweza omukwano gw'omwana ne maama.

 incent ukenya owe yengera  ngasitula omwana waabwe mukyala we orah annono gwe yaakazaala mu ddwaaliro e pigi Vincent Bukenya ow'e Kyengera, ng'asitula omwana waabwe, mukyala we Norah Nannono gwe yaakazaala mu ddwaaliro e Mpigi.

 

Eno y’entandikwa y'omwana okuyiga okwagala n'okwagalibwa kye kitegeeza, kino bwe kigenda mu maaso, omwana awulira bulungi, afuna obwesige nti ali mu mbeera nnungi era afiibwako. 

Okuyonsa omwana kizimba omukwano gwa maama n'omwana. Mu kunoonya ebbeere, omwana afuna okuyambibwako maama, kino kigasa omwana bwe kikolebwa n'omukwano gwabwe gweyongera, amuwembejja era ng'amutunuulidde mu maaso nga n'omwana omutaddeko ebirowoozo enkolagana ebeera eyongera okuzimba.

 ukenya ne mukyala we eyazadde nga beetegereza omwana waabwe Bukenya ne mukyala we eyazadde nga beetegereza omwana waabwe

 

Omwana eyaakazaalibwa aba asobola okwawula ebiwooma n'ebitawooma, asobola okuwunyiriza era kino kimuyamba okwawula amabeere ga nnyina ku bamaama abalala, n'okuyiga abantu abamulabirira. Noolwekyo  omwana kisaanidde ateekebwe kumpi ne maama nga yaakazaalibwa, maama bw’amukwatako n'amuyonsa, omwana ayiga olusu lwe, gy'akoma okumuwembejja n'okumwagala enkolagana gy’ekoma okweyongera wakati waabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono